Yeah kampala muwambe Mbega webaala wuuyo mukizimbe(kampala muwambe) Racho and crouch(mbega biba mubaala) Mwena abanywa kitoko nabo'bubina bwa facco Eno engoma ya racho nabagamba ffe tuddako A fik fameika black man down avie records we mush up di town. Chorus.. its high time gwe nofunayo ekyo kyoonywa Nze ndi mbega wa baala Mbega webaala ebyo tebituzimba eh eh eh eh Mbega biba mu baala X2 Verse1. Omusomi akwata pen omulimi akwata nkumbi.njagala mbasomese anti bwebakabala akabimbi.Ticha tewenyooma kwata kubisambi Selekta totubowa kyusa kulutambi Bawala mubaala mutufeeko bambi.kino kisusse govt tusaba buyambi...emisana tulya maluma mutumazeeko ensimbi Njogedeko nze bwogezi temumpita omuyombi Ntuusa bubaka bwa chali wange nyombi Ekyana kyamunywedde nakala nga kyefuula vvumbi talina zidako obudde tumbi hehe Yeah agamba bambi talikiddila yafunye lecture bweba nyanja takyabbila. Bwekyamaze okumunywa ate nekimulangila mbu asigadde ngomuti ogutalina milandira Chorus Verse2 Abana munywa mulingaanga musoke Muba mwagala tukaabe mwe museke..ate ba beeyi nebwaba enviiri alina kaweke..omala kalila wenna bwoti bwakusimba oluseke Mulimba mwakola bubi nyo kanyike..yayingila ekibaala ngalinamu akake Ate omusama bambi eyakava e Turkey bamusala ensawo tobayita cake nebajamu entuufu nebasaamu fake Akamu kubwo nekamukuba peck...kko ye musabe kyemwagala its ok bu baby bwasaba nkoko namatooke...atuuka osasula yasasula fake ate kanyike tebamukwaata jeeke omu ku ba bouncer tamukubye tteke Nga mbega nabagambilawo mumuleke Bali bagala zoleya nensigninga cheeke Nze ndi mbega wa baala R. Chorus x2 Verse 3 Nyingila bukyaali nga mbega omutuufu Clean n fresh newala obukyaafu. Bi baby bilina amazoleyo kyo kyekituufu. Kati obikubisa just nefuula mubuufu. Silinga chali wange nasifu ye yakuza mutwe obwongo bwakwaata balaafu Byaana abilumba alive awatali virus proof. Mbu olwokuba binyilila bilina nensusu emyuufu.(akawuka kamukwaata) Mubaamu abasama bo batujoogesa hummer. Byana bibakama naye bbo tebibachoma. Nze mbeela mu cover naye nange oluusi binkema nenejusa nobwambega nebuntama. Anti mbega aba sober tayiwa twenge mu ttama. Mbeera nga embwa jebakokonyeza enyama. Kankome awo mwana ba blad nkitadde. Mbadde nsaaga. Hehe Wabula mummatila yeah (mbega biba mu baala) Chorus till fade
Show more