Mukwano nsuubiza ebigambo By’oŋamba olwaleero bulikya n’obiddamu Sikyagala ondeete kamwenyu Ng’ate bulikya n’ondeka Onkutte ku mukono Tontanga ne ngwa ku kkubo Yeggwe eyamponya zero Omukwano ampeera mu kilo Ontutte wala nnyo nkusaba tulweyo Tubeere ng’abakatandika Manya obulamu bunyuma nnyo nga nkulabako Omukwano gwo kikajjo kika nnyo ooh
Nsuubiza nsuubiza Nga bwe kiri kati bwe kirisigala Era tondeka nnyongera Tondeka omulungi gwe ndaba Tonsiibula Jambo yo egenda kunnumya Obulamu ogenda buntamya Ate omanyiizizza laavu yo eno Bw’olivaawo ndisigala ntya eno? Buli kimu kigenda kuntama Wootoli bigenda kunnyiga Tonsiibulanga oh no Oh babe
Nkusaba owulire nga mpita Oyanguwe okumpitaba mba nnumwa Ndi kamuli k’ofukirira mu nkuba Oli kisiikirize mmwe neewogoma enjuba Era kati ninga muto omwana Ebintawaanya ewuwo gye ndoopa Gwe watuuka eri ewasemba Essanyu lyange lyokka lye nina Ondi ku mutima gwange ku ntobo Laavu kaserengeto na ddobo Kasweta kange mu mpewo Ssuubi lye natungira ensawo