Ndi Kyendi Lyrics by Judith Babirye


Nnyimba leero okukwebaza
Ndi kyendi leero lwa kuba onnyambye
Teri kye nandibadde nze nga toli nange
Hmmm Mukama munnange
Ndi kyendi lwa kuba onnyambye

Ntambudde mpola okutuuka wendi
Tebibadde byangu
Ebinsoomooza bingi
Ebinnemesa bingi naye mu byonna, hmmm
Mukama tondese, Ssebo weebale
Ooh olyokanga n’obeera, Katonda wange
Munnange olyokanga n’obeera amaanyi gange
Singa Mukama tewali ku lwange
Hmmm ab’ettima, abatukyawa
N’ebizibu byanditumazeewo, nnyimba

Nnyimba leero okukwebaza (kankwebaze)
Ndi kyendi leero lwa kuba onnyambye (teri)
Teri kye nandibadde nze nga toli nange (ooh ssebo)
Hmmm Mukama munnange (wajja)
Ndi kyendi lwa kuba onnyambye

Onkubidde abalabe abanene abansinga
Abo abannumya
Sso sirina mutawaana
Bye banjogerera, nebankolimira n’obifuula omukisa
Hmmm ndi kyendi
Mpangudde lwa kuba onnyambye, nnyimba

Nnyimba leero okukwebaza
(Hmmm ndeka nkwebaze Mukama)
Ndi kyendi leero lwa kuba onnyambye
(Lwakuba onnyambye munnange)
Teri kye nandibadde nze nga toli nange
(Ooh Mukama nga toli nange nze)
Hmmm Mukama munnange (nze)
Ndi kyendi lwa kuba onnyambye

Oh lwa kuba onnyambye Taata

Eeh kati obulamu bwe nina
Na byonna bye nina Taata
Ndi kyendi nze, ndi kyendi lwa kuba onnyambye

Ooh Mukama bano abaana be nina
Ebirungi bye nfunye mu nsi eno
Ndi kyendi nze, ndi kyendi lwa kuba onnyambye

Oh Mukama feeza ne zzaabu sibirina
Naye ebirungi by’ompadde nsiimye
Ndi kyendi nze, ndi kyendi lwa kuba onnyambye

Ooh kagabe amamotoka
Oba amayumba g’olimpa mu nsi eno
Ndi kyendi nze, ndi kyendi lwa kuba onnyambye

Mukama nze ndi kyendi
Ooh ndi kyendi leero munnange
Ndi kyendi nze, ndi kyendi lwa kuba onnyambye

Ndayira, ndi kyendi
Ooh sirina mulala munnange
Ndi kyendi nze, ndi kyendi lwa kuba onnyambye