Zaabadde kiro ssaawa nga munaana
Ndi mu nnyumba ewange neebase
Ne mpulira omuntu aŋŋamba
Nti owange zuukuka
Ofune pen n’olupapula
Owandiike bye ŋŋenda okugamba
Enkya obirangirire ku nguudo z’ekibuga
Nakedde ku makya nno bantu bange
Ne ŋŋamba Tony Houls ggyayo ebidongo
Nangirire omwaka gwa Mukama
Eri abaana ba Mukama
Nze mummanyi soogeza Katonda
Bano abamwogeza eby’akajanja
Bino nabigidde ddala ddala
Mu kamwa ka Mukama
Mu myaka mubeeramu omwaka
Ne mu ssaawa mubeeramu essaawa
Naye guno omwaka ogujja
Gwa baana ba Mukama
Amasabo gagenda kalira (eh)
Bantu bangi bagenda kulokoka
Ate mwattu ne bootasuubira bagenda kwatula
Malwaliro gagenda kalira
Agenda kuwonya buli ekikuluma
N’abalina siriimu bambi muwonye
Bw’ayogera Katonda (bw’ayogera Katonda)
Bannange ekimala kimala
Sitaani atuuse w’akoma
Ajooze abasumba ba kuno ng’omuwendule
Bwe nasirika n’olowooza twenkana
Guno naasituka naawe onaawulira
Pharaoh n’embalaasi ze jjukira mu nnyanja
Eeh amakomera gagenda kweggula
Enjegere zigenda kutuka
Bwoba okkiriza bye ŋŋamba kampulire akaluulu
Nangirira omwaka gwa mukama ogw’okuganja
(Baguka oyimbe)
Akkiriza okuzimba ku nnyumba
Kale mu guno ozimba (eeh baguka oyimbe)
Ogenda kusasula amabanja
Bw’ayogera katonda (baguka oyimbe)
Ofisseewo ezigula n’emmotoka
Olwo osinze erinnya lye(eeh baguka oyimbe)
Akkiriza okugendako ebweru
Ndaba ennyonyi yo erinda (baguka oyimbe)
Mumusabe amawanga anaagabawa
Bw’ayogera katonda (eeh baguka oyimbe)
Business ezibadde zaafa edda
Nga ne capital aweddewo (baguka oyimbe)
Nze nkulaba osuubula china
Mu guno ogujja (eeh baguka oyimbe)
Nangirira omwaka gwa Mukama ogw’okuganja
(Baguka oyimbe)
Nalabye Mukama ng’akutte olweyo
Ayera buli ekikubuza emirembe
Ne gino emikwano egy’obulimba
Nga gyonna gidduse
Ndaba oluggi oluggule mu maaso go
Yingira osikire ebisuubizo
Amaaso go byegatannalaba
N’amatu go bwegatyo
Olimagamaga ku kkono ne ku ddyo
N’onoonya ebyakutiisanga
Olyebaka mirembe mu nju yo
Bw’ayogera katonda
Nangirira omukisa gw’essente mu maaso go
Nga buli ky’okola kiraba omukisa
Ogaggawale oyambe n’abaavu
Bw’ayogera katonda
Eyasuulibwa ku mugga nga Musa omuto
Oli mu kibaya bambi oseerera
Laba muwala wa kabaka azze akulondawo
Abadde asemba guno akulembera
N’abadde ku ttaka alituula waggulu
Nze Katonda w’abo abalina omubiri
Waliwo ekinnema?
Nangirira omwaka gwa Mukama ogw’okuganja
(Baguka oyimbe)
Nangirira embaga ey’ekitiibwa Pasita Bugembe
(Eeh baguka oyimbe)
Waalaalaalaala
Abange ninga alaba akale
Katono nnyo ng’omukono gw’omuntu
Naye kanaavaamu ekire
Enkuba ey’amaanyi (enkuba ey’amaanyi)
Awabadde eddungu wabeerewo ennimiro
Na buli afukirira alifukirirwa
Abalabe bo basaasaanirenga
Makubo musanvu (eh eh)
Bano abakuloga mbasekeredde
Teri ddogo ekyo ani atakimanyi?
Katonda aweereze enjuki
Mu nkambi zaabwe gye bateeseza
Teri kya kulwanyisa eri obulamu bwo
Kasaale k’omubi leka kabe omuyonga
Na buli lusozi oluli mu maaso go ka luseeteere
Katonda atte enkwe z’abagerengetanya
Buli lulimi alusingise omusango
Balyoke boogere ab’amawanga
Nti akoze ebinene (Mukama)
Akamwa ko alikajjuza enseko
Oliba mutwe omukira guvuddewo
Buli kyatasimba mu ggwe, kale alikisimbula
Akuwe obugagga obwakwekwa ewala
Ensi ekuŋŋaanye ewe abaana be
Olibeera mulamu sso tolifa, okole emirimu gye
Eeh nangirira omwaka gwa Mukama ogw’obuwanguzi
(Baguka oyimbe)
Ndikuuma amagumba go tegalimenyeka
Bw’ayogera katonda (eeh baguka oyimbe)
Nangirira omwaka gwa Mukama ogw’emirembe
(Baguka oyimbe)
Nangirira omwaka gw’ezzadde
Gw’abadde omugumba (eeh baguka oyimbe)
Agamba ndikukkusa obulamu
Munnange tolifa (baguka oyimbe)
Nangirira, eh (eeh baguka oyimbe)
Nangirira omwaka gwa mukama ogw’okufumbirwa
(Baguka oyimbe)
Nangirira omwaka gwa Mukama ogw’okuzimba
(Eeh, baguka)
Nangirira embaga ey’ekitiibwa Pasita Bugembe
(Baguka oyimbe)
Baguka (eeh baguka oyimbe)
Ŋŋamba gwe eyetaaga fees
Taata amaze okusasula (baguka oyimbe)
Eeh (eeh baguka oyimbe)