0:00
3:02
Now playing: oli wange

oli wange Lyrics by Rema Namakula


akooye okumira amalusu nange

Nakooye okutunuulira abo abalina abaabwe

Nebasolobeza nga nze bwensaalirwa

Nasobose omugga gw’abaalemwa

Nengobera kulukalu lwaabo abawanguzi

Kati nange bwentuula mu bantu mpulira njaamu

Byona byona byebabadde bansuubiza

Ensi n’eggulu olwo nendoba

Mbifunidde mu kino etitereke ky’omukwaano


(Chorus)

Oli wange (Ne bwebananvuma)

Oli wange (Ne bwebanankub’emiggo ne bangobera wabweeru)

Ngenda naawe

Oli wange (Ne bwebananvuma)

Oli wange (Ne bwebanankub’emiggo ne bangobera wabweeru)

Ngenda naawe

Verse 2

Kati mukwano nno tuula ogume okakkane

Nze omanyi ndiba wuwo kiro na misana

Endowooza n’omutima gwange siribikyuusa

Buli wonjagalira mukwano ndibeera awo wooli

Ebikuluma ng’ombuulira nange nkubuulire ebyange

Akaseko akalungi ku maaso ago tokamalangako bwooba oli eyo

Kimanye nti nange eno gyendi nsigala nkalinze mukwano

(Chorus)

Verse 3

Njagala tufune ekiritwaawula kubalala abaliyo abeeraga mbu baagalana

Nga kumbe bwebadda ewaka babeera mukuwoza misango

Tusabe Rugaba atuyambengako ebituteganya abitumenyeremu mukwano

Oyo yasinga abasinga naffe bwetumwesiga anatuwanguza

Oohh sember’eno (omulungi) beera kumpi

Okumpi nange, tombeera bunaayira

Sember’eno (omulungi) beera kumpi

Oooh, tombeera bunaayira

(Chorus)