Radio Mukwano bwe neebaka Ennaku zino ssikyaloota Nkuwunyiriza mu nnyindo Nasigaza akawoowo ko Mukwano bw’oba ombalira Mu bantu b’oyagala Ombalira mu basembayo Oba ombalira mu basookera ddala? Kati nkulowooza, era nzijukira Bye twali twegamba Nga twesuubiza munyenye kuziwanula mu ggulu Kusiikiriza njuba, hmmm! Ebirowoozo ebyo ebirungi wabyerabira otya? Omukwano gwo omuwoomu wagukweka wa?
Radio Simanyi oba onzijukira naye nze Nkyakujjukira nnyo Simanyi oba omissinga naye nze Nga nkumissinga nnyo Simanyi oba onzijukira naye nze Nkyakujjukira nnyo Simanyi oba omissinga naye nze Nga nkumissinga nnyo
Radio Oh na oh na oh na na eh When you said that You wanted to run away I didn’t know that You wanted to find a way out You promised You and I were meant to be We were meant to be When you changed that This love fell apart, yeah yeah Kirabika luli bwe nakunyiiza ow’omukwano Wanyiigira ddala ddala Nebwengezagezaako okwetonda Mukwano, wafuna omulala Kirabika wanneerabira Ennaku zino, tokyanneeyunira Nkunoonya njagala nkukwateko Naye ennaku zino tokyalabikira ddala
Radio Simanyi oba onzijukira naye nze Nkyakujjukira nnyo Simanyi oba omissinga naye nze Nga nkumissinga nnyo Simanyi oba onzijukira naye nze Nkyakujjukira nnyo Simanyi oba omissinga naye nze Nga nkumissinga nnyo
Rocky Sandyagadde sandyagadde mwanawattu n’onsazaamu Na bino nze bye nina plan zaali za wamu Nga nkuyita kibunoomu Kuba nakwagalanga bw’omu Twalimanga babiri eyo emmanga mu lusuku Ne tusimba lumonde, muwogo gattako amayuuni Kati amakungula nze gaagano ngakungula omu Navanga ku ttale eyo okusiba kali akate kaffe Kali ke twakamanga ne tunywa ka chai kaffe Nzijukira akapeera n’akayembe bye naleetanga N’obutuntunu bwe twanoganga ku ttale Kati kye nkusaba gwe weekube mu mutima Era nga bw’opimapima olugendo gye tuvudde Sisobola siyinza Siyinza era sisobola Kuwa akadakiika wadde akamu okwerabira Nteekera omutima mu bed cover Togufuuyisa mpewo guteeke mu undercover Bwe nzibiriza nze nkulaba mu kibira Okutte n’akawojjolo akasingayo okunyirira Olwo bwe ntunula ne nkulaba ng’omwenya Ng’otambulira wali ku lubalama lw’ennyanja Ate nno bwe nsisimuka ne mpulira eddoboozi lyo Ng’ompita mpola mpola okuva mu bwengula Oh naye nakwagala nnyo simanyi oba ojjukira Nkimanyi ndi musobya manya teri atuukiridde
Radio Simanyi oba onzijukira naye nze Nkyakujjukira nnyo Simanyi oba omissinga naye nze Nga nkumissinga nnyo Simanyi oba onzijukira naye nze Nkyakujjukira nnyo Simanyi oba omissinga naye nze Nga nkumissinga nnyo Simanyi oba onzijukira naye nze Nkyakujjukira nnyo Simanyi oba omissinga naye nze Nga nkumissinga nnyo