Kale laba gwe nange Bwe twesiimye twekulidde, uh Tusonga bugalo mu bantu Abeezimbye abeetegekedde, oh Bakabala ne balinda enkuba Lw’erijja beeterekedde, hmm Baguma omusana ne bwe gwaka Mukama abawaniridde, hmm Ne bwe ziba nguudo Zaakuzimbibwanga ba professional Bwe ziba ntindo Zaakuwangibwanga ba professional, eeh Bwe giba misango Kale gisalibwenga ba professional Bwe kuba kulwana Kale tulwanyisenga ba professional
Balitindigga eŋŋendo empanvu Balibayitako abazira Gwe tobawaana nti wazaala banene nnyo Ne batufuukira envubu Bw’obabiibiita n’obakuza ekyejo Byonna biri bayita mu ngalo Balizannyanga balimenya n’essowaani Okunyiiga kube nga kwa kigero
Weasel Mukadde tosiba zikweya Tosiba zikweya yadde enviiri zikusiiwuuse Zikumyuse, topima bukoowu Topima buwanvu wadde enviiri zikusiiwuuse Zikumyuse gamba abaana bakole Guno omulembe ssi gw’abatakola Batemere empenda bonna bayige Guno omulembe ssi gw’abataayiga Ogamba nti wazaala bawanvu Bawanvu nnyo ng’emivule Ogamba nti wazaala b’amaanyi Banene nnyo ba kiwago, hmm The future starts today Educate the youths today Don’t you wait another day We’re the children of today The future starts today Educate the youths today Tomorrow is another day
The future starts today Educate the youths today Don’t you wait another day We’re the children of today