Omwana We Buddu Lyrics by Ava Peace

Aaah ah
Aaah ah
Aaah ah
T.N.S

Laba omwana mulabe omwana
Ono namuggye Masaka nina omwana
Ono omwana mulabe omwana
Nagenze Masaka gye naggye omwana
Baur

Mwanfuula mboozi eyo nno ku mwenge
Ogubawoomera, nze ngubassa munda
N’amannya nemugantuuma mangu
Mbu Ava Peace ye yadiba na dda
Ndeese kyasi muggyeyo obubakkobakko
Omwana w’e Masaka bonna yabasinga
Ssimuwaana lwakuba nti nange gye nva
Naye ono yakuzibwa yateekwateekwa
Kammuwonye emisege n’emiyaayu gyonna
Egirya enkoko okira amagunju ku ttale
Bwe gigaaya money, bwe gikomba beer
Bwe giggyamu embuto, gyakafa corona

Omwana w’e Buddu ono mu bangi gwe nnonze
Omwana w’e Buddu ono mu bangi gwe nnonze
Ntutte w’e Buddu oyo gwe kiruma afe
Omwana w’e Buddu ono mu bangi gwe nnonze
Omwana w’e Buddu ono mu bangi gwe nnonze
Omwana w’e Buddu ono mu bangi gwe nnonze
Musome mu byafaayo era abatuufu beebo
Omwana w’e Buddu ono mu bangi gwe nnonze

Okumukwatako n’obwongo buntabuka
Nzenna ndaluka, ebyenda bintokota (eh)
Namutuuma mukuumi ewaka eyo y’ankuuma (eh)
Namutuuma muyunja ebyange y’ayunja (eh)
Ne mmutuuma muyunga massage y’amumpa (eh)
Wabula omwana ono, maama
Bw’ofuna ow’e Buddu mikisa mu nnyumba
Ki kyotalaba temulaba bwe nfuuse?
Ampakanya ggwe okkakasa kye ŋŋamba
Buuza Ssuuna Ben akwata ku ly’e Buddu

Omwana w’e Buddu ono mu bangi gwe nnonze
Omwana w’e Buddu ono mu bangi gwe nnonze
Ntutte w’e Buddu oyo gwe kiruma afe
Omwana w’e Buddu ono mu bangi gwe nnonze
Omwana w’e Buddu ono mu bangi gwe nnonze
Omwana w’e Buddu ono mu bangi gwe nnonze
Musome mu byafaayo era abatuufu beebo
Omwana w’e Buddu ono mu bangi gwe nnonze

Laba omwana mulabe omwana
Ono namuggye Masaka nina omwana
Omwana mulabe omwana
Namuggye Masaka nina omwana
Ono omwana mulabe omwana
Nagenze Masaka gye naggye omwana

Mwanfuula mboozi eyo nno ku mwenge
Ogubawoomera, nze ngubassa munda
Abakwatibwa ennugu munte temummaala
Mutwale eri bu smile obulya abantu
Ndeese kyasi muggyeyo obubakkobakko
Omwana w’e Masaka bonna yabasinga
Ssimuwaana lwakuba nti nange gye nva
Naye ono yakuzibwa yateekwateekwa
Kammuwonye emisege n’emiyaayu gyonna
Egirya enkoko okira amagunju ku ttale
Bwe gigaaya money, bwe gikomba beer
Bwe giggyamu engoye, gyakafa corona

Omwana w’e Buddu ono mu bangi gwe nnonze
Omwana w’e Buddu ono mu bangi gwe nnonze
Ntutte w’e Buddu oyo gwe kiruma afe
Omwana w’e Buddu ono mu bangi gwe nnonze

Laba omwana mulabe omwana
Ono namuggye Masaka nnina omwana