Nkulinze Okole Lyrics by Sylver Kyagulanyi


Waliwo essaala gye nina
Ku mutima Yesu gy’omanyi
Ng’okufuba kwange kulemye
Nsigaze okukutunuulira
Waliwo obulumi mwempita
Wakati wo nange bw’omanyi
Nga nfubye okubuvujjirira
Ssente nazo ne ziremwa

Nkulinze okole eeh
Nkulinze okole eeh
Nnyimusa essaala yange gyoli
Katonda wange nkulinze okole eeh
Nkulinze okole eeh (nkulinze okole)
Nkulinze okole eeh (nkulinze okole)
Nnyimusa essaala yange gyoli
Katonda wange nkulinze okole eeh

Oluusi n’okusaba kulema!
Ne nkaabira mu maaso go
Bwe nzija eno ewali abalala
Ne nnyimirira ne neegumya
Sirina plan n’akamu
Yesu wange gw’antegeerera
Obulamu obwange n’okufa
Byonna biri mu mukono gwo
Nkulinze okole

Nkulinze okole eeh (nkulinze okole)
Nkulinze okole eeh (nnyimusa)
Nnyimusa essaala yange gyoli
Katonda wange nkulinze okole (oh)
Nkulinze okole eeh (hmmm)
Nkulinze okole eeh (nkulinze okole)
Nnyimusa essaala yange gyoli (aah)
Katonda wange nkulinze okole

Kwonna okufuba kwange tekunnyambye, oh!
N’amagezi gange mpulira gakomye
Simanyi kati binaggwa bitya!
Gw’amanyi

Nkulinze okole eeh (nkulinze okole)
Nkulinze okole eeh (nkulinze okole eeh)
Nnyimusa essaala yange gyoli (oh)
Katonda wange nkulinze okole (hmmm)
Nkulinze okole eeh (nkulinze okole)
Nkulinze okole eeh (okole Yesu)
Nnyimusa essaala yange gyoli (nnyimusa, essaala)
Katonda wange nkulinze okole (hmmm)

Ne bano abalala abakunoonya
Bamu bulumi bungi kwe batudde
Balokole obakwatireko
Nkulinze

Nkulinze okole eeh (nkulinze)
Nkulinze okole eeh (y’essaala yange)
Nnyimusa essaala yange gyoli (aaah)
Katonda wange nkulinze okole (oooh)
Nkulinze okole eeh (nkulinzeee)
Nkulinze okole eeh (nkulinze okole)
Nnyimusa essaala yange gyoli (nnyimusa ssaala)
Katonda wange nkulinze okole (Katonda wange nkulinze)

Nkulinze okole eeh (nkulinze)
Nkulinze okole eeh (y’essaala yange)
Nnyimusa essaala yange gyoli (nnyimusa essaala)
Katonda wange nkulinze okole (aaah)
Nkulinze okole eeh (uuuh, nkulinze)
Nkulinze okole eeh (y’essaala yange)
Nnyimusa essaala yange gyoli (nnyimusa essaala gyoli)
Katonda wange nkulinze okole (aaah)