Yeah Eno ssi remix eno freestyle Nagikubye ne Ian mu Zamba style Okawulirizaamu once in a while Koyi koyi, ggwe!
Koyi koyi? Lya Koyi koyi? Lya Ono akirya oli akirya Wulira bwe nkirya Koyi koyi? Lya Koyi koyi? Lya Ono akirya oli akirya Wulira bwe nkirya
Yeah Kampe respect Zamba Mmwe tewali kye muŋamba Sauti ya samba Ate omwoyo gwa ggwanga Nkikola lwa Uganda Ne Legend of Zamba Na buli ali eyo anyumirwa Luga wa Uganda Nzijukira nali mu S.2 Ne mpa Zamba amatu Ne mukoppa ne muyigirako saakola mputtu Nga Mun G ow’ebintu Kati mbakuba one, two Tebamanyi what I’m up to Ekitiibwa kya Yesu Kristu Kankukube boyi boyi Mu ŋŋoma ya koyi koyi Nkuweerewo nkuliirawo tonyumya bya ddoyi ddoyi Mbuuza nga mussoyi mussoyi Gwe n’oddamu ccoyi ccoyi Tunoonya answer ffenna to the riddle of koyi koyi Towakana Ssi ggwe ayakisa omwezi n’omusana Ssi ggwe asoose wuliriza ku bizibu bya Bafana Ensi ffenna yatukwata mwana n’etugabana Abamu Nansana abalala baddu mu nsi z’akasana
Aah, wulira Saalina master plan Wadde back up plan Ne bambuuza ogenda kikola otya gwe man? Kyali kya ntiisa kuba saalina na maanyi Nga Sheilah Gashumba neesiga God’s plan Nali mugumu, nga nkimanyi I and I munda nze ani Bampima ku minzaani ne bammala amaanyi Nzijukira akacupa k’omusulo akankubwa fan Ne nsaba Kitaffe amusonyiwe tamanyi nze ani Naye nga yenze ani? Kabaka mu clan Nze nkokoto eggumiza Hip-Hop stand Nze kitangaala ekigoba ago amasitaani Sizoleya bya buwangwa true African Moment of silence eno beat ngisse Zamba yalagidde omusika agitte Mwebale abakungubazi mwenna abaziise Akazannyo kaweddemu flag mpanise
Yo Nasamba nnyo nze mu lubuto lwa maama Nalina kuba mukubi wa migere nze mwana Naye eno ensi ate g’okaaba g’onaaba Abamu ennaku ya kuno ate bagiyonka butaaba Kankunyumize gye nava era Bazaala buli kaseera Sex ye TV y’omwavu kw’amalira ebiseera Bambi tobanenya era Kubayita baleera Kuba b’oyita abaleera Nange gye nava era Bwe mbala emyaka bambi gye nsulidde ku seminti Nsaana obwa Ambassador Mu kampuni emu mu seminti Bwe nzijukira, Mukama gyanzije okumpa hit Nange nfunayo gwe nnyamba, wansi ku street Kankuzzeeyo emabega katono Nga ssinnaba ku musono Nga rapper akubwa omu, ng’ate afuna kitono Nga ne bu show butono Nga bu deemu butono Naye kati twawamba Ian ku musono
FBM babe Yeah Oli akirya babe Yo Greatness has no limit babe FBM am pressing the digit lady (ha ha ha) Yo Feffe Bussi wo respect to the Legend of Zamba Kati nze abasamba (haha)