Bobi Bosss!!! (hmmm) Big up to all the nation (aah) What’s all this confusion? This is a Rasta-Pastor discussion Listen to the good boys
Bobi Leero Pastor kinkoze bulungi ne nkusanga Nina na bingi abantu bye bagamba Kyova olaba nze sisaba ku Sande Olw’ebibuuzo ebingi ebitalina answer Ekyo tekitegeeza nti Katonda simumatira Oba n’ebirungi bya nkolera ssibimatira Nze naye buli lwe nnoonya we musabira Awatuufu ye wa?
Both Nandyagadde ne nsaba ku Sande Naye ate bye mpulira bintiisa Eeh nedda ojjanga n’osaba Eno mu Kkanisa tewali ttabu Bantu bangi tunoonya mirembe eyo Naye mpulira ebizibu bisinga eyo Hmmm nedda, nedda Eno munnange tewali ttabu
Both Nze sikulimba Buli kimu kirina answer Bobi Abantu bakoowu Kubanga ba babbye ssebo Abantu balwadde mitima, balwadde K’oli Pulezidenti waabwe Buuza ebibalumya emitima nange wendi Ngezeeko; nfube nnyo, ngezeeko Mutugamba nti jangu nga bw’oli onawummula Ate olutuukayo ne mutusaba akaja Essaala ze musabira omwavu n’omugagga Ziba za njawulo nange kyansobera Nze nange kennyini Njagala nnyo nzije naye oluusi ntyayo, oh
Both Kati onsuubira otya okujja mu Kkanisa? Nga bwe nsoma amawulire Abasumba balya bisiyaga! Eh vvaawo no no no Vva ku bantu Bobi Nze nkugamba Yesu atalya bisiyaga Nze atalina ssente yala Bwe nzijayo eyo ne mungobesa ebinusu? Oli omukazi omunaku ow’eppeesa Yawaayo okusinga abagagga Ate aloga muggya we amutte Ng’ekkanisa gy’akozesa ng’essabo lye? Ekkanisa ezimu hmmm, Funa akadde twogeremu ewange Entalo nnyingi ze nwanye zankeeta (ewammwe) Kati ate entalo nnyingi mu banaddiini Maama tuswadde! Yesu bye yagamba twabivaako Yagamba oli bw’akkuba oluyi Kyusa ne ku ttama eddala okube Haa!, ate ekyo kyantabula! Anyway eby’enjiri byo nze byansobera! Kubanga nze ewaffe gye mpoyera Bw’ompa oluyi nze nkuddiza ŋŋuumi
Bugembe Edda ennyo nga tuli mu kyalo Ng’ewa neighbor balya abantu Mbu era mu ddiiro lyabwe Mulimu ekinnya kya wala (tell me this) Waliyo amafumu wansi Ku ngulu baalako mikeeka (what!) Bw’okyala awo w’otuula N’ogwayo ne bakulya (what!!!) Maama, lwali lumu ne wafaayo omuntu Abange nakulabira ani agenda okuziika (Bosss!) Twatuuka mu lumbe Mulambo mu ddiiro mwe bagutadde (anha) Ng’abakaaba we batudde Kyokka tewali agwayo (tewaali?) Abantu baayomba, banyiiga Ani yalimba ekyalo? (hehehe) Singa tetwagenda, mu kuziika Tetwanditegedde mazima (okay) Kati bwegutyo bwe guli Ne ku balokole by’owulira (hahaha) Tegeka famire yo Barbie mugambe ayambale Ne Kampala ayambale Tugende mu Kkanisa okusoma (Preach them Pastor) Mwezuulire amazima Mwezuulire amazima aah ah
Both Nandyagadde ne nsabako nammwe Naye ekikulu nina amaraasi Eeh nedda ojjanga n’osaba Eno mu Kkanisa tewali ttabu Eyo mu church mwambala bi gentle Kati ate ffe abambala ekiraasi? Hmmm nedda, nedda Eno munnange tewali ttabu Ate n’oluusi ekitulemesa nga ffe Kwe kujja eyo ne mutuyita abayaaye Eeh nedda ojjanga n’osaba Eno mu Kkanisa tewali ttabu Kati watya bwe nzija ne Kabaaya Ne ntuuka ne mumugobera ebweru Hmmm nedda, nedda Eno munnange tewali ttabu Bosss!!!