Ennaku entuddeko ku mutima Simanyi oba ngiteese wa! Buli kye nkola kiremera awo ne nsoberwa Abange nsale galuwa? Ŋezezzaako nnyo okukola kye nsobola Nfune ku bulamu obweyagaza Nsobole okusanyusa abange be nkuuma Nabo nno maama beeyagaleko Oh ndabye ennaku etekoma etudde ku nze Oh maama ki kye nakola? Bwe ndaba ali mu ssanyu ne neekyawa Nga nze ndaba nzigwerera Enkuba enkubye omusana gwase ku nze Empewo nayo entintimya Ka nfube nkole nga nange bwe nsobola Ennaku ngifuule lugero Zikusooka Nezitakuva mabega
Nagendako eyo ewa baaba Ne mmuliiramu ebizibu byange Kyambuukako baaba bwe yaŋamba Nti twala twala eri ebigambo byo Ab’emikwano bankyawa Omwavu tayagalika Ne nsigaza Lugaba Mungu eyantonda Ye yekka y’atalingyabulira Oh ndabye ennaku etekoma etudde ku nze Oh maama ki kye nakola? Bwe ndaba ali mu ssanyu ne nekyawa Nga nze ndaba nzigwerera Enkuba enkubye omusana gwase ku nze Empewo nayo entintimya Ka nfube nkole nga nange bwe nsobola Ennaku ngifuule lugero
Eby’ensi eno bintabudde maama Mbirekedde omutonzi alina obuyinza Bannange lwaki bo beeyagala Nze ne mbulwa ke nfunayo akalungi Sinoonya bya bugagga ku nsi Wabula mirembe gyokka Nzijanjabe abomumaka gange Omukyala n’abaana bange