Ani agula ensi kuba tugitunda? Naye atuwa eza wamu abuze Katugitunde mu bibajjobajjo Wabula gye tulaga teri amanyiyo Bwetulikwata omusimbi gwaffe Africa, teri ayamba!
Omwavu bwe bakubba nkugamba Totawaana n’ebyokuloopa Amazima batya kugaatula Nti omwavu tasinga musango Eyakubbye omukwata Kikwetaagisa ez’okuvujja Ne bwoloopa tebabiwulira Ke bamanya nti tolina kovaako Omubbi ayongera kuyinaayina Ye kuba ku ze yabbye abawaako Africa, teri ayamba!
Tuombe Mungu baba Akomboe nchi yitu Mambo hayako sawa Muona tuangamia Tuombe Mungu baba Akomboe nchi yitu Mambo hayako safi Muona tuangamia
Mu ddwaliro ekkulu e Mulago Abalwadde baagalayo batono Mbu na buno bwe balina mu nkukutu Nabwo butere bufune ku bantu Eddagala bagamba dyongeza Ffe ate tuteesa dikendeeza Ne be twatuma otukiikirira Nabo bateeseza mbuto zaabwe Mbu emmotoka ze tulina nkadde Batuwe ssente, tuguleyo endala Africa, teri ayamba!
Buli akola ekituzza emabega Obeera weetabye mu kutunda Ne mu maaso g’omutonzi Gubeera gumaze okusinga Wano ssiyombye buyombi Wabula tulumirwe eggwanga lyaffe Africa, teri ayamba!
Tuombe Mungu baba (tuombe) Akomboe nchi yitu (tuombe Mungu) Mambo hayako sawa (tuombe) Muona tuangamia (tuombe) Tuombe Mungu baba Akomboe nchi yitu (tuombe Mungu) Mambo hayako safi Muona tuangamia (tuombe) x 2