Naawe lwaki weekunya? [Lwaki weekunya] Oneekwasa ani bwononsubwa? So nga jempita, ndeka abasajja batega ngalo Mbeggyako nga bangoberera mbakambuwalira bansekerera Mu makubo emisana n'ekiro nga bampaana
Sirina gwennali nsabye nnamba Naye babula kuzimpandiikako Sibuuza na jebasula naye ate bandagirira
Siri muyembe Nti oba onninda kwengera olimba Siri paapaali Nti owanula mengevu mboona Nze binemye ebibyo Nkulinze nkooye Tonkabiranga Nga bakukubye bbusu
Nze laavu yantabula eri esesa Gwo yagala aba agayaala Nga gwotamatira ye akukaabira Bwoyoya ekibumba awo waali Tekimugaana kukuttira nte Nebweweekaza n'omuvuma bambi ate yeyeenenya
Ekintu kyolina okyakigaya Oluliva awo nga wejjusa Ng'owoza saamanya nali nnina okwanguwa Nze ndaba ovumbeera tumbuka Oleme kwekuba ate gakonde Nti gunsinze gunsingidde ddala
Siri muyembe Nti oba onninda kwengera olimba Siri paapaali Nti owanula mengevu mboona Nze binemye ebibyo Nkulinze nkooye Tonkabiranga Nga bakukubye bbusu
Mbiwulira nga bakulumiriza Simanya bino manya biri Babijweteka nti era, ndimu kasala luguudo Nze ebyo tebindya manyi wolokoso Teri magic ansika Guli mukwano gwegwantuuka ewala Tondeka mu mwala gwa bikemo Mujjuvu, gujja kunserengesa Olyoke onnenye nze onsalire omusango So nga bambi ggwe musobya Okugalabanja nze nzenna Gwe seka Oli byejjusa nga nfunye afaayo