Bino nno tebisesa Yaw Pon di beat you know chemical cli nicer
No love like forbidden love I promise You will notice Just in case you don't know this
Nkubuulira Yakulira mu gate Ng'okusiima kwa bazadde be Yasoma ebitabo yasanyusa ba teacher be Bakozi baaliwo naye yayiga offumba eddigobe Omwana omulungi aba kyabugagga Kya bazadde be Yali musirise Okwawuka ku baganda be Naddala big sister we ewaka nga bamuyita ddebe Baamumanya nnyo Naye tebaamutegeera Olw'obysirise nga baagala nnyo omutegeerera Twayagalanako naye ewaabwe tebantegeera Nebankubisa eyaabwe nga bw'obitegeera Nze eyali yala Gattako amaviiri Maama nti Shadia bulijjo naawe totegeera Lwenasooka okulaba ku zziga lya Shadia Nemugamba nja kuba fit Tokitya dear Buli musajja gweyaletanga nga bamugaana Balenzi baamuvaako nga tebakyamukwana Baamufunirayo gweyali talina kugaana nga nebw'amujooga anaamugambaki nga teyakwana
Ko bbo Nti totandika kukolima wano omusajja yakola buli kyeyali yetema Mchwwww Obufumbo bwebuba guma Just mutuddiza kuzetuwaayo nga musoma Yaleka suicide note teyali mpanvu Taata mwebale butatukuliza mu bwavu Kyokka mungu ababikkirire emitima gyammwe myavu Mwannemesa bennayagalanga nti baavu Nkakasa baafuna kuba tebaali bagayaavu Naye Kati laba bad luck Si buli lunaku nti lwa muzungu na Bad Black Gwenayagala mwamuyita kalenzi kataliimu naye gwemwanjagaliza mulwadde wa siriimu Sandikolimye singa temwabiriimu Ngenze naye mubalibasonyiwa siriimu Temwali nange mwali ku opponent team
Nze manyi mutwagaliza birungi ba Taata ba Maama Naye olwa banandaba batya mutandise okukyama Omwana wo nga tali bulungi kikuume nga kyama Nebw'aba fine kibeerenga kyama Mutabuse nnyo ku mulembe guno Naye mbuuza obwavu busse bameka Mu mwaka guno Omwana bw'aleeta mwana munne nti omuzaale Baagalize emikisa Nga nelwebatakkaanyizza bakulaba ng'omusaale Kwekulaba emikisa