Oluganda kuyiga Na kati wulira Nze we ndigwa waaligwa Bbeene Kibeera kikyaamu okuwera eri Bbeene Nti waaligwa w’oligwa naawe Bbeene ffe tutabaalira Kabaka teyetabaalira apaana Yenze Kiyaga muzzukulu wa Gabunga Dr. Hilder lyo likola nsimbi E Mawokota nasiibula Ne mbasuubiza Batege Radio ssaako ne Terefayina Nkakasizza omwana agenda Agendera ddala Onkuumiranga omwana ono Mu bonna yaŋambye asinga Osinga abalala Onkuumira ku mwana ono Abataka eno essanyu linzita Ono omwana kyankola Wulira evvumbe Ayayaya Z’ezo embuutu zempita keetalo Eno eŋŋoma ffe y’etugatta munnange Ow’eŋŋoma
Munnange mwana wange ogenda mu bufumbo Teri akukase gwe atuyise tukakase zino ensonga Era n’otugamba y’asinga Okuumanga ekigambo ekyo ky’ekikola buli nsonga N’okusoma kwo ssi kivve Kifuuka kivve bwe kikulembera obufumbo Eheh! omwana w’omuwejjere Ky’onkoze ndikinyumizaako ne Namalere (Jajjange Namalere) Koona nyeenye ku masejjere (Namalere) Lino essanyu nkakasa lituuse ne Masengere (Masengere Masengere) Manya obufumbo kirabo Wulira ka nnyabo Yagala munno z’ezo engalo Naawe ssebo Laavu ssi ntalo Lwe musanyuka era ng’eŋŋoma elaya Koona ku Namunjoloba
Eno eŋŋoma enzijukiza ssebo Buli lwe yavuganga ng’akuyita alinawo ky’agamba Baana bange mussa nga kimu Oli bw’akunyiiza waakiri gwe koona ku ŋŋoma eŋŋanda Buli lw’ozinamu bw’oti bw’oti N’abadde n’obusungu tomanya gye buggweera Eh! omwana w’omuwejjere Ky’okoze ndikinyumizaako ne Namalere (Jajjange Namalere) Koona nyeenye ku masejjere (Namalere) Lino essanyu nkakasa lituuse ne Masengere (Masengere Masengere) Ayayaya! Omwana w’omuwejjere Ky’okoze ndikinyumizaako ne Namalere Koona nyeenye ku masejjere Lino essanyu nkakasa lituuse ne Masengere Gerald engalabi sigiwulira