Weetunulemu Lyrics by Genius Omuzira


Weekuba obukonde mu bufuba nga weejaga
N’odda ku bantu n’owewa n’obapimapima
Okyeyisa otyo naye ensi eri kugunjula
(Josh King)
Genius Omuzira

Kati kino kimanye
Ssi gwe wa kitalo asoose
Nkulaba omera ku bantu naye
Weetunulemu
Bw’owulira nti emirembe ngalo
Muli okirowooza ko ki?
Nze kyenva nkugamba
Weetunulemu

Aaah aah ne bw’obeera kanyama nga tomegga olerula
Lw’olifa ssi gwe agenda okwesitula
K’obe muwanvu nga teweetaaga kukangabala
Manya tosobola kulengera binaabawo nkeera
Okulengezza abantu osaanye obeeko w’okoma
Tojudginga katabo lwa ddiba nga tonnakasoma
Okuduula n’okujerega tobifuula mugano
Era otegeere nti ekisuula omuntu kitono
Ab’amalala ensi ebagabana nga bw’esanze
Ng’oyagala ekugondere ba wa mpisa mwetowaze
Bye weekaniikirira abaabisookamu baazaawa
Kati nno funa minzaani weepimemu obenkana wa?
Tetwakalaba ba naggwano abatagambwako
Emirembe ngalo tuula okirowooze ko
Abakuwaana n’ogaziwa magoma gavugira aliwo
Gwe linda kulaba nga bye bakwagalako biweddewo

Kati kino kimanye
Ssi gwe wa kitalo asoose
Nkulaba omera ku bantu naye
Weetunulemu
Bw’owulira nti emirembe ngalo
Muli okirowooza ko ki?
Nze kyenva nkugamba
Weetunulemu

Yadde oli mulungi mweru nga wenna otiba butibi
Ekisiikirize manya olina kiddugavu ng’ate kibi
Sigaanyi weyonja onaaba buli kaseera
Kiki ekiddugaza towel ng’ogyesiba otukula?
Thermometer ya degree kikumi ekola mu nkwawa
Gwe olina kamu kokka naye weenyumya n’otunyiwa
Kuva lwe nayiga nti ensimbi tezizza bulamu
Nensala omuliro kw’ebyo ebitwemazaamu
Weetwala okuba nti oli wa higher class
Tuukako mu ggwanika oba muli mu special place
Ku babyomera abafiira mu bugagga obutokomoka
Olaba ani gwe basibirira emmaali ye nga bamuziika?
Gwe ajojobya abantu nga ojja obabbako amataka
Tubuulire kabuli obugazi acre bapima mmeka?
Naggagga olina emmotoka nnyingi ewuwo
Kiki okugenda ku kitanda w’osula otambula wo?

Kati kino kimanye
Ssi gwe wa kitalo asoose
Nkulaba omera ku bantu naye
Weetunulemu
Bw’owulira nti emirembe ngalo
Muli okirowooza ko ki?
Nze kyenva nkugamba
Weetunulemu

Leka kulowooza nti oliba wa maanyi lubeerera
Eno dunia tuyitamu buyisi ssi ya kukungula
Gwe omulogo ensi gw’ekungiriza bw’otagooka
Tolowooza nti toligenda b’otta gy’obasindika
Toŋŋoola muntu lwa kikula oba lwa ndabika
Ssi gwe afulumya calendar y’Omutonzi ey’entegeka
Bawantono obakkako n’ojooga neweerabira
Nti be balikuzinga nga bamasebbuto basumagira
Ogwo omumwa gw’otafuga buli muntu n’ogeyengula
Ninze kulaba nga bakusibye akaba oba gwogera
Akuumibwa ekikungu n’olagira abalala battibwe
Gwe twakuvako twasigala kunyenyeza mitwe
Naye manya tetwakalaba abatagambikako
N’olwekyo weekubemu torch nga okyaliko
Ensi ekutaddeko eriiso lwakuba ekyakuterese
Tolaba ennyanja okuteeka n’olowooza nti ggoonya zikkuse