Abato Lyrics by Maddox Sematimba


Osasira nga emyooyo emito
Lwakyi ojiyisa obubi
Ŋŋamba emiti emito
Lyeririba egwanga ly'omumaso ooh oh
Ffe abakulu 
Tujanjabe emiti emito gikule

Osasira nga emyooyo emito
Lwakyi ojiyisa obubi
Ŋŋamba abaana abato
Lyeririba egwanga ly'omumaso ooh oh
Ffe abakuze
Tujanjabe emiti emito gikule

Tolina buyinza ssebo
Nebwoba ani munsi
Okutyobora edembe lya musaayi muto
Kikwolwa kyibi
Wadde gwomuzara
Naye muntu nga gwe 
Era mumaso ga katonda mwenkanankana
Mugolole ensobi zze
Naye atte tomukangavula
Gwe beera ekyokulabirako ooh
Bwaliba akuze naye akole nga gwe eeh
Oooh eeeh

Osasira nga emyooyo emito
Lwakyi ojiyisa obubi
Ŋŋamba emiti emito
Lyeririba egwanga ly'omumaso ooh oh
Ffe abakulu 
Tujanjabe emiti emito gikule

Babulire ekituffu bagunjuke
Baliise bulungi banyirire

Osasira nga emyooyo emito
Lwakyi ojiyisa obubi
Ŋŋamba abaana abato
Lyeririba egwanga ly'omumaso ooh oh
Ffe abakuze
Tujanjabe emiti emito gikule

Ezadde lyo likwate nga bulungi
Kye kirabo kyo okuva eri omutonzi
Mulabirire muwerere mubulirire
Ayige ntino okwagala kukira ettima
Nti era oluusi obujjemu
Bwe buleetera abato okugenda ekampiringisa 
Wabula kyakabi
Okuzala abaana 
Ate netubaleka nebakulirira ku makubo, eh
Nze ndowooza twebaze nyo
Mukulu Keffa Ssempangi
Bwoba nga tomumanyi buuza 
Banakubulira 

Ffena tukole ekisa kingi eri abaana baffe
Ffena tukole ekisa kingi eri abato

Osasira nga emyooyo emito
Lwakyi ojiyisa obubi
Ŋŋamba emiti emito
Lyeririba egwanga ly'omumaso ooh oh
Ffe abakulu 
Tujanjabe emiti emito gikule

Babulire kweebyo ebyaliwo
Byafaayo bya Uganda babimanye

Osasira nga emyooyo emito
Lwakyi ojiyisa obubi
Ŋŋamba abaana abato
Lyeririba egwanga ly'omumaso ooh oh
Ffe abakuze
Tujanjabe emiti emito gikule

Banyonyole ebyensi webikola
Enono ne byobuwanga babimanye

Osasira nga emyooyo emito
Lwakyi ojiyisa obubi
Ŋŋamba emiti emito
Lyeririba egwanga ly'omumaso ooh oh
Ffe abakulu 
Tujanjabe emiti emito gikule, eeh

Mabujje g'ensi eno
Gakwate nga ekyatika munange

Osasira nga emyooyo emito
Lwakyi ojiyisa obubi
Ŋŋamba abaana abato
Lyeririba egwanga ly'omumaso ooh oh
Ffe abakuze
Tujanjabe emiti emito gikule


About the song "Abato"