Rrrrrrrr Hmmm Ah dis one better than the other one A Barnely Uganda hmmm Hmmm hmmm Eno ecuuma nnyo, nnyo (yes man) Eddie Dee
Kambuuze, erinnya lyange linnyamba ki? Nga sisobola kweyita! Ye bwe ndya nenzikuta mba ntawaanidde ki? Nga ne ku makya bukya ennuma! Bwe nkwacca ebikoola bya ovacado mba ki? Ezigagula bwe zimbula Ye bwe ngwa mu love n’omukozi onkola ki? Nga y’anjalira we nsula
Bagamba mbu omwavu y’asinga oba n’amagezi Naye bwe gasukka luba lugezigezi Leero ku makya mbu omulogo y’akuloga Kyokka bw’onoonya owona era gy’ogenda Kitegeeza eno ensi ekumegga n’ekuluma Anti ne gw’otya omuvumira mu matama Kuba n’emmotoka ekukuba n’ekutta Kyokka ku makya n’omulambo n’egukima Nze sikweka ng’enkola y’Abakiga Akugambirawo bw’omukubira omukka Edda ng’empale yo kasita eyulika Tosala ku bbala naye kati ly’esswaga! Nasanze seeka n’owa booda Nga bayomba ng’amugudde ne mu malaka Ng’ontuuza otya ku mutto gwa booda Kw’osiba Ssuuna Ben enva z’akutuma? Kko nze what are you? Nasirise butaswala Kuba gwe ky’oyagala ate eriyo abatakyagala Gwe weewola mukazi wo omukuba embaga Kyokka ng’abaana azaalira neighbour
Kambuuze, erinnya lyange linnyamba ki? Nga sisobola kweyita! Ye bwe ndya nenzikuta mba ntawaanidde ki? Nga ne ku makya bukya ennuma! Bwe nkwacca ebikoola bya ovacado mba ki? Ezigagula bwe zimbula Ye bwe ngwa mu love n’omukozi onkola ki? Nga y’anjalira we nsula
Nze ndi mulwanyi nsobola okukuba Golola Singa nfuna abamunsibira emiguwa Pastor nkeera kulokoka bw’ombuusa Mu bisolo byonna ekikumpisa ekiriga! Bw’oba onoonya atagenda kucheatinga Kwana namwandu owone okufoolinga Toba na kutya mbu ate bba we bw’ansanga Ng’okimanyi bba ali wansi wa mutuba Singa okutta ebisolo batusiba gwa murder Teri mukazi yandiwonye gwa nkoko murder Singa ky’osinga okulya enkya ky’ofuuka Nkakasa singa Amooti baamukwacca Bw’oba n’ekikuluma ekiro obudde tebukya Kyokka bwanguwa nnyo ng’olina bye bakuleega! Simanyi abalalu e Kampala muli ba mbega? Nga sitera kulaba mulalu gwe batomedde!
Kambuuze, erinnya lyange linnyamba ki? Nga sisobola kweyita! Ye bwe ndya nenzikuta mba ntawaanidde ki? Nga ne ku makya bukya ennuma! Bwe nkwacca ebikoola bya ovacado mba ki? Ezigagula bwe zimbula Ye bwe ngwa mu love n’omukozi onkola ki? Nga y’anjalira we nsula
Anti waliwo oluusi lwe ntunula ku ggulu Nenneebuuza ebibuuzo ate nembyeddamu Oba omutonzi omutwe agusuza Naguru Nga ffe abali obubi y’ewali amagulu (eh!) Bwe ntaamira mba nkoze kiki-ennyo? Omanyi mwefuula ba I know-more Siraba njawulo wakati wa O na zero Kuba bw’omala okugatta enjawulo eba zero Muvulugavuluga ng’oguze essimu ey’ekyenda Nze ku Mutaasa bansaba kkumi ate nemmuwa mwenda Ndaba mujeregajerega mbu omuko yala ayera luggya, eh Amujad, ah ku buko mba sijja Anti omwavu, ye taba na pressure Avuga bigere kuba byo tebinywa mafuta Anti nebwatamiira enju n’ataggala Taba mu kutya mbu oba ekiro banaamubba
Kambuuze, erinnya lyange linnyamba ki? Nga sisobola kweyita! Ye bwe ndya nenzikuta mba ntawaanidde ki? Nga ne ku makya bukya ennuma! Bwe nkwacca ebikoola bya ovacado mba ki? Ezigagula bwe zimbula Ye bwe ngwa mu love n’omukozi onkola ki? Nga y’anjalira we nsula
Yo Ah mi name Barnely Uganda one two A true dancehall King straightta haha Don’t try this at home A Eddie Dee Producer Acton Records Rrrrrrrr, chooo!