Kankuwe Lyrics by Maurice Kirya


Singa nalina ebiwawatilo
Nandi kutute eyo mubwengula
Netuvira abensalwa abo abangi

Twandiliddenga bile
Wansi wenjuba
Ndyoke nkuwe omukwano gwange omulungi

Ohhh, Kankuwe omukwano
Paka emunyenye wezinagwa
Ohhh, Kankuwe omukwano
Paka emunyenye wezinagwa

Singa nali kimuli kya rosa
Nandi egyeko amagwa agafumita
Sandi yagadde kulaba nga okaba
Nandi emulisiza nenkusikiliza
Ndyoke nkuwe akawowo kange akalungi

Ohhh, Kankuwe omukwano
Paka emunyenye wezinagwa
Ohhh, Kankuwe omukwano
Paka emunyenye wezinagwa

Ohhh, Omutima gwange gugwo
Zanyisa nga omwana omuto
Ohhh, Obulamu bwange bubwo
Ndiberanga wuwo
Ndiberanga wo

Singa nali muka ogwokusa
Nandi egyeko enfufu eyo
Sandi yagadde kulaba nga olwala

Ohhh, Kankuwe omukwano
Paka emunyenye wezinagwa
Ohhh, Kankuwe omukwano
Paka emunyenye wezinagwa

Ahhhhhh
Kankuwe, Kankuwe
Paka emunyenye wezinagwa
Kankuwe, Kankuwe
Paka emunyenye wezinagwa
Kankuwe, eeeee
Paka emunyenye wezinagwa
Kankuwe, Kankuwe
Paka emunyenye wezinagwa
Singa nali kimuli kya rosa
Nandi egyeko amagwa agafumita
Sandi yagadde kulaba nga okaba