0:00
3:02
Now playing: Byonkola

Byonkola Lyrics by David Lutalo


Davie Lutalo
He he he he
Mozart

Yambuna, eh
Butalekaawo mulala w’agya
Nansona, eh
Omutima n’omwoyo byonna
Yanzijula mutima abukuta era andi musaayi nzenna
Enjala y’omukwano eruma ng’ate tojja giriisa gonja
Nze eyali amanyi okwegumya nti mukwano sitya ndi soldier
Ye mbagambe ki ate kati nga nammwe mulaba ŋŋonda nfa
Mbeera mu kkubo nnyabo ng’omaze okuntegeeza nti ojja
Olaba otya munnange (oh)
Bw’otuula n’onnyumizaako (oh)
Njagala nkulaamire ebyange (oh)
Obwongo n’omutwe gwako (oh)
Ondobezza munnange (oh)
Oba ogira n’onyookezaako! (oh)

Olina byo by’onkola baby
Aah ah baby
N’onkubisa aga solar sweetie
Aah ah sweetie
Omukwano gunzita baby
Aah ah baby
Olimu byessoogera honey
Aah ah sweetie

Y’ali mu mwoyo gwange mu center
Y’ankamulira akatunda ne nnywa
Ddagala lya mutima ggwange ye mudokita
Era y’ampolomesa obwedda
Bakuwe ku mazzi bakuwe ku soda?
Bw’otamwenya baby wange oba otta
Oli ku mutima gwange gw’ogotta
Wafuna oguuma n’ekiti n’osotta
Omukwano gwo mukambwe laba bwe gungoya
Love ogimpadde sikyajula
Ojja kunzisa omukwano mpolampola
Sirina bwongo omusaayi tegukyakola
Ono gy’agenda gye ŋŋenda (aaah)
Kijaketi na wa boda
Alina omukwano kye ŋŋamba
Teyankyayisa ŋŋanda
Gy’agenda gye ŋŋenda (aaah)
Kijaketi na wa boda
Teyankyayisa ŋŋanda
Alina omukwano kye ŋŋamba
Ye oba ddogo
Nze love gye mpulira nga ntoko
Yabalekawo aba ppoko (ppoko)
Ky’ekibazimbizza ng’embogo

Olina byo by’onkola baby
Aah ah baby
N’onkubisa aga solar sweetie
Aah ah sweetie
Omukwano gunzita baby
Aah ah baby
Olimu byessoogera honey
Aah ah sweetie

Abalala mbalaba, hmmm
Naye tebamatiza, hmmm
Bagabamu maziga, hmmm
Tebalina mitima, hmmm eh
Gwe mulungi ow’ensonga
Abalala obakize
Bw’obula ebirwadde byesomba
Nemmiramira buli mpeke, eh
Sembera eno baby ng’ogonda
Wabula wakkuta emmere
Otambula abasajja beekoona
Bigula babitomere

Olina byo by’onkola baby
Aah ah baby
N’onkubisa aga solar sweetie
Aah ah sweetie
Omukwano gunzita baby
Aah ah baby
Olimu byessoogera honey (oh na na na)
Aah ah sweetie

Olina byo by’onkola baby
(Nkwagala ne byesimanyi oh baby)
N’onkubisa aga solar sweetie
(Abageyi balingeya nze ŋŋenze)
Omukwano gunzita baby
(Nkwagala ne byesimanyi oh baby)
Olimu byessoogera honey (oh na na na)
(Abageyi balingeya nze ŋŋenze)

Ono gy’agenda gye ŋŋenda (aaah)
Kijaketi na wa boda