Follow @pearltunes.com on TikTok
0:00
3:02
Now playing: Akaloosa

Akaloosa Lyrics by Dokta Brain


Nkebera omutima wennyini
W’olaba awayonjo kafo ko
What a love deal done
Awo awayonjo kafo ko
Oh what a success to be in my love

Wasuze otya gwendowooza?
Gwe gwenasalawo okwagala n’ebitasaana
Gwe omwana w’abalungi eyalungiwa
Abakulabako kizibu obutakuwaana
Ate okimanyi ndi muntu buntu
Ani anenyeza okupenda omuntu?
Kanyonyi kange mu kisusunku
Mu byonna ebirungi obisaana my boo
Ne memory y’akaloosa ako
Ako akandoosa ebirooto ebisooka (nakuloose)
Nga nfuluuta, ekiro mu masuuka (nakuloose)
Akaloosa ko masanda agalemera mu masuuka aah
Sirina gabuukabuuka nagalekera Wakikere emugga (nakuloose)

Sisobola butakuloota
Gw’alimu akaloosa akandoosa
Sikigeza butakuloota
N’ebirooto byo nze aba aloota
Sisobola butakuloota
Olimu akaloosa akandoosa
Sikigeza butakuloota
N’ebirooto byo nze aba aloota

Bwenkuloota nnyumirwa otulo
Ng’oyagala onnyiize onzigya mu tulo
Nga ndoota ku babe nnyumirwa otulo
Mbula kuzuukuka lwaggulo
Nkebera omutima wennyini
W’olaba awayonjo kafo ko
Ate by’onoonya mu love
Obikusomesa seetaaga chalk
Omukwano gwo ngulina siguyiriba
Ne bw’ojja ne ppipa n’osena ng’otwala
Nkutadde mu ssaala
Gwe lwenkulootako otulo tuwooma (nakuloose)

Sisobola butakuloota
Gw’alimu akaloosa akandoosa
Sikigeza butakuloota
N’ebirooto byo nze aba aloota
Sisobola butakuloota
Olimu akaloosa akandoosa
Sikigeza butakuloota
Gw’alimu akaloosa akandoosa

Ne memory y’akaloosa ako
Ako akandoosa ebirooto ebisooka (nakuloose)
Nga nfuluuta, ekiro mu masuuka (nakuloose)
Akaloosa ko masanda agalemera mu masuuka ah
Nakuloose
Nkebera omutima wennyini
W’olaba awayonjo kafo ko
Ate by’onoonya mu love
Obikusomesa seetaaga chalk (nakuloose)

Gw’alimu akaloosa akandoosa
N’ebirooto byo nze aba aloota
Olimu akaloosa akandoosa
Omwana oyo



About the song "Akaloosa"

"Akaloosa" is a song written and performed by Dokta Brain. It was produced by Success Vybz and released on April 25, 2025, through Zhafar Music Agency.