0:00
3:02
Now playing: Sibiwulira

Sibiwulira Lyrics by Eddy Kenzo


(Verse 1)

Baaba mutya bigambo
Nkutumuddeko jambo gamba va ku bantu
Abantu abo baasoba
Ensi bajilaba bwabwe
Ate tebayiga
Ebigambo kwebatudde oku judginga
Nolugambo olutatadde
So no Ekikusudde
Kuwuliliza nyo ebiteeso byabatuuze
Kilungi nowuliliza naye nga bwosengejja
Kuba batomeza ebiswa(batomezaa)

(Chorus)

Sibiwulira 
Ebigambo byabantu sibiwulira
Nasigaza kupakasa
Sente ye muganda wange alinzijukila
Abange Sibiwulira 
Ebigambo byabantu sibiwulira
Nasigaza kupakasa
Sente ye muganda wange alinzijukila

(Verse 2)

Leero bwentyo bwentuuse
Baaba nkubulire ebigambo oteleere
Abantu abo baleke
Nsaba tobeesiga basusi bamenvu
Waliwo omusajja gwenasomako
Yayagla nyo mubani we okuva eyo mu kyaalo
Ngabalina Akalogoyi
Akabavugila amazzi nobukumbi obulima
Baalina olugendo nebagenda nako
Nga batidde okukaleka tebakabba
Nekakulembela nebagobelera
Eyasooka okubalaba naavuma
Mwe temutegeera simanyi mwavudde wa
Mwanditudde ku ndogoyi neyilingisa
Bamuwulira nabo nebakatuulako
Nekayilingisa ssebo nebavulumula
Eyaddamu okubalaba naavuma
Nabalangira nga bwebatalina kisa
Akalogoyi ka kitawe mbu bamenya
Banditambudde nako nekagobelera
Bwatyo mzee yavaako
Naleka mutabani we omuto atuule
Nkugambye baavuma omwaana
Atasaasila mzee waawa ono
Naye omwaana nakabukako
Nayita mzee mzee naktuulako
Abantu bebasanga bavuma mzee baaba ah ah
Omuntu omukulu atyo atasasira mwaana yaani
Mzee yasobelwa neyeetuga
Olwebigambo byabantu ebyamusukako
Nomwana yetuga olwobusobelwa
Nebajilekawo endogoyi
Osanga nendogoyi nayo yafa
Nga teyina ajiwa kyakulya oba okubbibwa
(Batomeza)

(Chorus)

Sibiwulira 
Ebigambo byabantu sibiwulira
Nasigaza kupakasa
Sente ye muganda wange alinzijukila
Abange Sibiwulira 
Ebigambo byabantu sibiwulira
Nasigaza kupakasa
Sente ye muganda wange alinzijukila

(Outro)

Nze nkola bino binsanyusa
Mbeela byange bwentyo seegula
Segoda 
Temunesipaata Sseguya
Ndi ku bandiko
Abalina omukwaano ogungasa
Nasigaza kupakasa
Sente ye muganda wange alinzijukila