(intro)
Bwebiba bimeetinze
Kusanuka nsanuse
Irene Ntale (Brian Beats)
(verse)
Nze kino kyempulira n’omutima gwekanze
Nali ndowooza nti oba oli awo onimba
Naye ondaze nti ky’oliko kituffu nyo
Sibino
Omuliro n’omuzigo bwebiba bimeetinze
Kusanuka nsanuse
Njagala omanye nti ky’oliko kituffu nyo
Original
Ne bwekuba ku kyusa mu ndabika
Oyagala wa gomesi nsingo biseera
Nakula biliyo era kyemanyi tezimboola, he!
Ab’ebiwato babikozesa
Ab’obubina bwaabwe babubigula
Njagala omanyi nti ndi wuwo tebindya ebyo
(chorus)
Mpa nkuwe
Mpa nkuwe
Eddembe ly’omutima gwange lisula eyo
Mpa nkuwe
Mpa nkuwe, kyekyo
Mpa nkuwe
Yongeza
Eddembe ly’omutima gwange lisula eyo
Mpa nkuwe
Mpa nkuwe, kyekyo
(verse)
Baliwa baliwa abazunza olugambo
Bagende bakabateme
Baliwa baliwa bano abakisala
Njagala mukinyikize
Mumulabe omulangira
Atunula nga eyatonye jjo
Omanyi mujooga nyo
Naye ku luno mbajoozemu
Wamma ne bwekuba ku kyusa mu ndabika
Oyagala wa gomesi nsingo biseera
Nakula biliyo era kyemanyi tezimboola, he!
Ab’ebiwato babikozesa
Ab’obubina bwaabwe babubigula
Njagala omanyi nti ndi wuwo tebindya ebyo
(chorus)
Mpa nkuwe
Mpa nkuwe
Eddembe ly’omutima gwange lisula eyo
Mpa nkuwe
Mpa nkuwe, kyekyo
Mpa nkuwe
Yongeza
Eddembe ly’omutima gwange lisula eyo
Mpa nkuwe
Mpa nkuwe, kyekyo
(verse)
Nze kino kyempulira n’omutima gwekanze
Nali ndowooza nti oba oli awo onimba
Naye ondaze nti ky’oliko kituffu nyo
Sibino
Omuliro n’omuzigo bwebiba bimeetinze
Kusanuka nsanuse
Njagala omanye nti ky’oliko kituffu nyo
Original
(chorus)
Mpa nkuwe
Mpa nkuwe
Eddembe ly’omutima gwange lisula eyo
Mpa nkuwe
Mpa nkuwe, kyekyo
Mpa nkuwe
Yongeza
Eddembe ly’omutima gwange lisula eyo
Mpa nkuwe
Mpa nkuwe, kyekyo