0:00
3:02
Now playing: Ku Ggwe

Ku Ggwe Lyrics by Iryn Namubiru


(Verse 1)

Okwagala kwondaze nkizude sirina kwenkupima
Gwe olikuluuyi lwange mpawo kilinyinza
Okuva mubuto bwange onjagadde ekisakyo nzize nkilaba
Ompagidenga nonzija awabi ongabilide ebitenkanika,
Ngawade bwekitusenga kugwe nze ngayadde mukwano gwange 
Tonsudde omukisagwo ompade nonyaniriza
Mazima nze eyali tasanira ontusiza kubinene nebyamanyi ,
Nemukaseera wenali sisuubira gwe wampa buvumu oli wamanyi

(Chorus)

Kuggwe, kuggwe kwenekute sikuta (mutonzi wange)
Kuggwe kuggwe nenywezeza (kagube omuyaga kunyanja)
Kuggwe, kuggwe kwenekute sikuta (mutonzi wange)
Kuggwe kuggwe nenywezeza (kagube omuyaga kunyanja)

(Verse 2)

Kankuyite nantakisizibwa
Ggwe amanyi ebyokumpi nebyebuzibuziba
Oba kankuyite kamanya byona  
Gwe amanyi ebilabika nebikusike
Silyelabira wala eyo jonzijje
Nebinji byompanguziza 
Abadde gwe abadde gwe liiso dene atakuumira mpera
Nga nensi lwebadde ekaluba 
Obadenga defender wange 
Ontasizza nemungeri zemba simanyi mutonzi wange
Mukugolokoka okwebisomoza mba muguma, ninayo gwe 
Nanti kululwo nesoma, nenelaga
Nenewaga nti  nina omulwanyi wange asinga
Mazima nzeyali tasanira ontusiza kubinene nebyamanyi, nemukaseera Wenali sisubira wampa gwe wampa buvumu oli wamanyi 

(Chorus)

Kugwe, kugwe kwenekute sikuta (mutonzi wange)
Kugwe kugwe nenywezeza (kagube omuyaga kunyanja)
Kugwe, kugwe kwenekute sikuta (mutonzi wange)
Kugwe kugwe nenywezeza (kagube omuyaga kunyanja)

(Outro)

Oluusi ompa nebyesisabye nga gwe okumanyi mbyetaaga 
Ndabira awo nga wabimpadde 
Kati nayiga era namanya nti nze kulwange sisobola
Entalo ezange kanzikulekere ozinwanire



About the song "Ku Ggwe"

"Ku Ggwe" is a reggae gospel song written by Lubwama Golola Simon and performed by Iryn Namubiru. It was released on March 1, 2025.