0:00
3:02
Now playing: OFUUSE LUYIIMBA

OFUUSE LUYIIMBA Lyrics by Iryn Namubiru


Gawawaala amatu gawawaala,
Mpulira ng’ongamba bingi ebinyuma
Omwoyo kankuwe guugwo twala
Omutima wamba.......
Onsitudde ndi mu bbanga
Ntangaaza ensi yonna wendi ssikyali oli
Ebiseera biri
Ssi byebiseera bino,
Ng'ekyenjawulo gwegwo omukwano gw’otaweeza
Chorus*2
Ofuuse oluyimba (Gawawaala)
Luno oluyimba lwa langi (Gawangaaze)
Ofuuse kiragala enkya kyenvu (ombunyebunye)
Nkukowoola ssikoowe (heeiye heeiye)
Nkowoola luyimba
Lumpangudde
Nze kati luntwala
Luntutte eyo mu buwambe
Bw’omwoyo gwo
Tuyolekere olugendo
Tugoberere ebyasangwawo,
Emitima gitukulembere
N’oluyimba lutuwanire
Lunsitudde ndi mu bbanga
Ntangaaza ensi yonna wendi ssikyali oli
Ebiseera biri
Ssibyebiseera bino,
Ng’ekyenjawulo gwegwo omukwano gw’otaweeza
Chorus x2
Nze kati nserengeta munonya
Nga nkowoola oluyimba
(Nkowoola oluyimba)
Aaaha aaah
Olwo olunsudde akazoole
Lwogezza bangi obwaama
Mbiwulira naye ssibyendiko
Kw’ebyo byebalondoolalondoola
Tebinsigule ku mukwano gwo
Ooho ooohooo
Gawawaala
Wooooaaah oooh oooh
(Oluyimba lwa langi)
Ofuuse kiragala enkya kyenvu (Ombunyebunye)
Nkukowoola ssikoowe (Heeiye heeiye) (sikoowe ssikooweeee)
Ofuuse oluyimba (gawawaala)
Luno oluyimba lwa langi (gawangaaze)
Ofuuse kiragala enkya kyenvu (ombunyebunye)
Nkukowoola ssikoowe (heeiye heeiye) x3
Ofuuse oluyimba
Yeeaaa eeeh
Uuhhh uuhhmmm.