Nkutte pen ngolola ba rapper kigambo ku kigambo (Jim)
Mbatwala mu limbo
Kuba buli gwengolola mulambo
Fe fe mulambo, fi fi mulambo
Za za, ezo nnyingo ggyawo olugambo (hahaha)
Mbasinga nkiwulira mu musaayi ne mu ŋŋambo
Ndi sharp nga panga nze mpanga mu kupanga ebigambo
Ndi top gwe oli baby
Am a class above
Nga Ronaldo mu misanvu
Nkulukuta mbuuka misanvu
Kiba massive when I serve
Gaba masavu savuwala
Ndi bank ya bigambo saavuwala
Ndi kumpi siri wala
N’ebirooto byange ba mugezi ziba amatu ndi kumpi siriwala
Eyali akuba ekya wano musajja tali eyo
Bwe najja yadduka mu America nti akube ekyeyo
Obaako ekifu ku maaso nga Alkaline
Gwe atalaba nti Abedunego babe aluka line
Ndi sick mu rap ne mu geng
They can’t come close bantya nga mugenge (Jim)
Mu New Skool nze head ma…, malayo (malayo)
Naye leero sikusonyiwa nsimbi malayo (malayo)
Kyenzimbye ne KCCA terikimenyawo (no)
Nkubuusa, nga nnyonyi genda Bulaaya komawo
When you fuck with me, ozaala lenya
Lyrically oli muto oyiga kugeegenya
Nawaako ezzike bu beef neribugaana
Bwe naliwa obwenge essanyu neriribugaana
Zzike gwe nakuwasa kyova olina agaweta
Bw’oba mugezi weta ng’okyalina agaweta (hahaha)
Okumbeefinga kiba suicidal oba wesse
Ndi muyaayu tompama tonnemesa emmese (Jim)
Kikafuuwe
Bw’oba oyagala ssente nkwata ku mukira nga ppusi nkufuuwe
Ate tokigeza kuba siri gay (no)
Ndi straight tonsiiga nziro nga kisige
Ssente zikuluma nga bbi
Ng’enjuki oli stingy yalabbi
Musama ki atata siringi?
Wano mu rap nze mutwe, rapper wo mukira
Nze mpagi nga Ssematimba, mpita Pillar
Tompapira apipira
Tondippira nze ndi pillar
Bw’olippira envubu oba oyokyezza nga caterpillar
Baagambanga ayonoonese ensi ezaala
Bwebandaba bansabayo omutwalo nga sezaala
Bankubanga ekikono stopping me to rise
Nga sikozesezza mikono mbakubye surprise
Mister asaba kundaba ayogeza ggono
Ayagala kundabira mu kyama nga porno
Nze nina amasannyalaze like a generator
Bwaba ayagala kwetonda ndi mu office ajje ne letter (Jim)
Nina ekirooto okufuula Ghetto heaven (yes)
Ky’ekinteeka ku pressure twenty four seven
Nga tonnazuula eyaawe checkinge
Weewulira power nga bouncer nkucheckinge?
Hip-Hop wamulemaza nga polio
Weebuuza bwenkikola ondaba nga tutorial (Jim)
Kati ggyayo ennyondo sekula ka munyeera
K’okolime eby’enkoko tebitta kamunye era
Rap za hippo zitamiiza ba people
Ba fan bangi ng’amacupa mu dipo
Rap za hippo zitamiiza ba people
Ba fan bagamba no Jim Nola, no Hip-Hop
Yenze, yenze, yenze Hip-Hop
Yenze Hip-Hop, yenze Hip-Hop
Yenze, yenze, yenze Hip-Hop
Genda Bulaaya komawo yenze Hip-Hop
Yenze, yenze, yenze Hip-Hop
Yenze Hip-Hop, yenze Hip-Hop
Yenze, yenze, yenze Hip-Hop
Genda America komawo yenze Hip-Hop
What more can I say?
Jim
Abedunego babe
The sun of Najjuma
What more can I say?
Yenze Hip-Hop
Kati obadde ogamba ki?