Teziwera Lyrics by King Saha


Eh yeah yeah
Buli lwempita eyo ne mpulira nga bagereesa
Nti obugagga si kusonda
Abalala ne bantiisa nti
Abakola ennyo beebatafuna, ensi eno
Lw’okedde n’opatikana kyewunyisa
Ovaayo ngalo nsa
Eby’ensi eno bwebityo
Oba ng’afuna ng’ate ebizibu byesomba
Ebya dunia bwebityo
Nkoze emirimu mingi naye omutuufu gwabula (eh)

Twandibadde naffe tufuna
Ssente tuzaagala ziwere (naye teziwera)
Abandaba nebambuuza tukulaba okola
Ssente oziteekawa? (teziwera)
Twandibadde naffe tufuna
Ssente tuzaagala ziwere (naye teziwera)
Abandaba nebambuuza tukulaba okola
Ssente oziteekawa? (teziwera)

Nti batugamba tuzikwata bubi
Naye abagagga be basinga ozisaasanya
Nti batugamba tetusavinga
Naye nga twerekereza olumu tulya na maluma
Omwavu lw’awadde omukazi
Omutwalo asula akaaba, eh
Omwavu lw’alidde ku ssente ze
Azirya yeekomomma aah
Ogenda n’onnyuka na lukumi kale
Nga lw’olina nga kw’osibidde empale
Ku kkubo n’ojja osanga omusirikale
N’alutwala gwe n’osigala sseke (hey)

Twandibadde naffe tufuna
Ssente tuzaagala ziwere (naye teziwera)
Abandaba nebambuuza tukulaba okola
Ssente oziteekawa? (teziwera)
Twandibadde naffe tufuna
Ssente tuzaagala ziwere (naye teziwera)
Abandaba nebambuuza tukulaba okola
Ssente oziteekawa? (teziwera)

Twandibade naffe tufuna
Mu baloodi ne tuyitwa
N’emivaazi nga tukuba
N’amasuuti ku mikolo nga tunyuma
Ssente zafuuka essente
Buli omu azikaaba lulwe
Ssente yatabuka
Buli omu aginyumyako mu lulimi lwe
Okumanya yatabuka
Osobola n’okubalira mu kazikiza ah
Okumanya yatabuka
Osobola n’okwekweka amabanja aah

Twandibadde naffe tufuna
Ssente tuzaagala ziwere (naye teziwera)
Abandaba nebambuuza tukulaba okola
Ssente oziteekawa? (teziwera)
Twandibadde naffe tufuna
Ssente tuzaagala ziwere (naye teziwera)
Abandaba nebambuuza tukulaba okola
Ssente oziteekawa? (teziwera)

Chamili oziteekawa?
Okola nnyo ssente oziteekawa? (teziwera)
Jeff oziteekawa?
Sam, Visco naawe oziteekawa? (teziwera)
Allan, eh essente
Crouch munnange oziteekawa? (teziwera)
Ssente zaafuuka essente
Ssente zaafuuka essente (naye teziwera)