0:00
3:02
Now playing: Kampala

Kampala Lyrics by Nince Henry


Kampala alabika alinamu ekiwuka mu mutwe
Bw’oba nga toyagala mazima
Towuliriza luyimba luno
Kubanga lunyiiza

Kantandike nga bulijjo naye ku luno sijja kwogera bye mpulira
Njagala njogere bye ndabako nawe by’omanyi era ebikukwatako
Nkolera wano okolera wano gwe wasangawo n’oli eyakusangawo
Okeera wano nkeera wano gw’ava e Ntebe n’oli asula e Kololo
Tuli mu Kampala mu city
Ekibuga ky’abapattikanyi
Eno ye kampala yennyini era y’esingamu ba ngalobunani
Bano bannakampala b’olaba
Baagala nnyo okulaakulana
Naye bannakampala bennyini ate mwe mufumbekedde enkwe n’empalana
Mpulira wano mpulira wano ng’abakyokooza ate bebakuba enduulu
Tobawulira towulira by’oyo ng’ate ebyabwe baakwagala owulire
Tuli mu kibuga ky’abatamiivu nga naye bamanyi okukola
Tuli mu kibuga ky’abalabufu ate nga kijjuddemu abeebafu
Tuli mu kibuga ky’abasomye nga be basingamu obwavu
Tuli mu kibuga ky’abatasomyeko nga be bayiwa ensimbi wano

Kampala wabula Kampala tategeerekeka
Ye Kampala waffe
Kampala alabika alinamu ekiwuka mu mutwe
Ky’ekibuga kyange
Kampala leero awoma ate enkya akaawa
Ye Kampala waffe
Olumu akaluba ate olumu agonda
Ky’ekibuga kyange

Enkola y’e Kampala okugilowoozaako
Ofunamukko ne kanzunzu
Ebintu byokukkono ate by’ebyokuddyo
Wano tewali mbeera ya lubeerera
Abakujooga ababiri obaleka bakuyita
enkya beekuba engwala
Abatalina kye bamanyi be bawabula
Be bamanyi buli kimu ne bwe bakikola
Abali ku bigere be bajerega Hummer
Akavuyo wano Taxi ne Bodaboda
Bazivuga ngawatali mateeka
Ekikulu aba Traffic wano nabo bali yala yala yala
chorus
Wano amazima mabi
Bo bagasalako era bagayita ma**
Oba nga Gashumba abakuwalana be
bamu bakuwagirira mu nkukutu
Ekibuga kino bakikwata mpola
Tewali kisobola kukulema kukola
Abakulwanyisa bamala ne bakuwagira
Gwe buuza Jennipher ow’e Kampala

Kampala wabula Kampala tategeerekeka
Ye Kampala waffe
Kampala alabika alinamu ekiwuka mu mutwe
Ky’ekibuga kyange
Kampala leero awoma ate enkya akaawa
Ye Kampala waffe
Olumu akaluba ate olumu agonda
Ky’ekibuga kyange

Reverb studio
Barbi Jay
Zion K

Eby’e Kampala ebirungi nkumu
Eriyo n’abatunda ewaabwe
mbu ajja Kampala akoleko mu city
Basibira mu paaka abamu mu Owino
Nga naye olina okuyiiya
Omuliro bwe gutayokya
Musisi bw’ayita ng’alongoosa
Kibuga ky’abagezi wamu ne ba ffala
Ate tewali amanyi wa waagwa nze
bannyakulako essimu nga nvuga
Ne bandagira n’okuggyawo obusiru
Wamu n’akamanyiiro kange
natandika ddi nkwate eyo essimu?
Ne nsaba awo banfunire ku ssimu
Nenkubira officer yennyini
Ddakiika ssatu eyange ng’egguse

Kampala wabula Kampala tategeerekeka
Ye Kampala waffe
Kampala alabika alinamu ekiwuka mu mutwe
Ky’ekibuga kyange
Kampala leero awoma ate enkya akaawa
Ye Kampala waffe
Olumu akaluba ate olumu agonda
Ky’ekibuga kyange