Kampala alabika alinamu ekiwuka mu mutwe Bw’oba nga toyagala mazima Towuliriza luyimba luno Kubanga lunyiiza
Kantandike nga bulijjo naye ku luno sijja kwogera bye mpulira Njagala njogere bye ndabako nawe by’omanyi era ebikukwatako Nkolera wano okolera wano gwe wasangawo n’oli eyakusangawo Okeera wano nkeera wano gw’ava e Ntebe n’oli asula e Kololo Tuli mu Kampala mu city Ekibuga ky’abapattikanyi Eno ye kampala yennyini era y’esingamu ba ngalobunani Bano bannakampala b’olaba Baagala nnyo okulaakulana Naye bannakampala bennyini ate mwe mufumbekedde enkwe n’empalana Mpulira wano mpulira wano ng’abakyokooza ate bebakuba enduulu Tobawulira towulira by’oyo ng’ate ebyabwe baakwagala owulire Tuli mu kibuga ky’abatamiivu nga naye bamanyi okukola Tuli mu kibuga ky’abalabufu ate nga kijjuddemu abeebafu Tuli mu kibuga ky’abasomye nga be basingamu obwavu Tuli mu kibuga ky’abatasomyeko nga be bayiwa ensimbi wano
Kampala wabula Kampala tategeerekeka Ye Kampala waffe Kampala alabika alinamu ekiwuka mu mutwe Ky’ekibuga kyange Kampala leero awoma ate enkya akaawa Ye Kampala waffe Olumu akaluba ate olumu agonda Ky’ekibuga kyange
Enkola y’e Kampala okugilowoozaako Ofunamukko ne kanzunzu Ebintu byokukkono ate by’ebyokuddyo Wano tewali mbeera ya lubeerera Abakujooga ababiri obaleka bakuyita enkya beekuba engwala Abatalina kye bamanyi be bawabula Be bamanyi buli kimu ne bwe bakikola Abali ku bigere be bajerega Hummer Akavuyo wano Taxi ne Bodaboda Bazivuga ngawatali mateeka Ekikulu aba Traffic wano nabo bali yala yala yala chorus Wano amazima mabi Bo bagasalako era bagayita ma** Oba nga Gashumba abakuwalana be bamu bakuwagirira mu nkukutu Ekibuga kino bakikwata mpola Tewali kisobola kukulema kukola Abakulwanyisa bamala ne bakuwagira Gwe buuza Jennipher ow’e Kampala
Kampala wabula Kampala tategeerekeka Ye Kampala waffe Kampala alabika alinamu ekiwuka mu mutwe Ky’ekibuga kyange Kampala leero awoma ate enkya akaawa Ye Kampala waffe Olumu akaluba ate olumu agonda Ky’ekibuga kyange
Reverb studio Barbi Jay Zion K
Eby’e Kampala ebirungi nkumu Eriyo n’abatunda ewaabwe mbu ajja Kampala akoleko mu city Basibira mu paaka abamu mu Owino Nga naye olina okuyiiya Omuliro bwe gutayokya Musisi bw’ayita ng’alongoosa Kibuga ky’abagezi wamu ne ba ffala Ate tewali amanyi wa waagwa nze bannyakulako essimu nga nvuga Ne bandagira n’okuggyawo obusiru Wamu n’akamanyiiro kange natandika ddi nkwate eyo essimu? Ne nsaba awo banfunire ku ssimu Nenkubira officer yennyini Ddakiika ssatu eyange ng’egguse