Ooh oh oh
Yenze Spice Diana
Alimpa
Abaafuna
Nessim Pan Production
Alimpa
Eno ensi ngitunuulira n’ekoma
Tekyali ya mazima na bwenkanya
Omwavu kaatetenkanya abe obulungi
Omugagga k’abalirako yekkuse
Efuuse y’abalabbayi bakenuzi
Amaanyi ky’ekigammala mu bye nkola
Nnoonya we ndikonkona nzigulirwe
Nze atalina nsimbi nti ngulirire okunjuna
Bwe nebuuza ku bansingako bantegeeza
Nti guma ne Bible bw’ekirambika
Nti omwavu k’aliba alina kalitwalibwa omugagga
N’akagattako kw’ebyo by’aliba alina
Both
Tukolerera baafuna
Mukama wanditujunye ensi okukyuka
N’omukozi n’aganyulwako mu ntuuyo ze
Naye aah ah,
Alina y’ayongerwako
Aba Boda bambi
Taxi maama
Abatembeeyi batunoonya
Ky’ova olaba nze
Nkola bye njagala maama
Bwe nnyumirwa bwentyo
Spice
Jjukira lwe baakugobera omwana gy’asoma
Okuddayo watunda n’akatebe mu nju
Nga kyokka okeera kukola ng’era obanja
Nga naye ne gw’obanja naye era abanja
Abantu kati ku luno bafuuse ensolo
Ssente zibamyusa
Buli afunyeko ayagala kutuula yekka
Mbu abalala ebyabwe byo bikomye aah
Nze kati ku luno taata kye nsaba aah
Onnyimusize ekitone kyange
Onyigirize enemy wangu
Olwanenga n’abalabe bange
Both
Tukolerera baafuna
Mukama wanditujunye ensi okukyuka
N’omukozi n’aganyulwako mu ntuuyo ze
Naye aah ah,
Alina y’ayongerwako
Aba Boda bambi
Taxi maama
Abatembeeyi batunoonya
Ky’ova olaba nze
Nkola bye njagala maama
Bwe nnyumirwa bwentyo
Both
Eno ensi ngitunuulira n’ekoma
Tekyali ya mazima na bwenkanya
Omwavu kaatetenkanya abe obulungi
Omugagga k’abalirako yekkuse
Jjukira lwe baakugobera omwana gy’asoma
Okuddayo watunda n’akatebe mu nju
Nga kyokka okeera kukola ng’era obanja
Nga naye ne gw’obanja naye era abanja
Both
Tukolerera baafuna
Mukama wanditujunye ensi okukyuka
N’omukozi n’aganyulwako mu ntuuyo ze
Naye aah ah,
Alina y’ayongerwako
Aba Boda bambi
Taxi maama
Abatembeeyi batunoonya
Ky’ova olaba nze
Nkola bye njagala maama
Bwe nnyumirwa bwentyo
Both
Aba Boda bambi
Taxi maama
Abatembeeyi batunoonya
Ky’ova olaba nze
Nkola bye njagala maama
Bwe nnyumirwa bwentyo