0:00
3:02
Now playing: Kagobako

Kagobako Lyrics by Spice Diana


(Intro)

Onsinze kagobako (Waguan)
Omulungi mazima tunulako eno
Ojooze nze wulira ohh (Bassboi)
Eno bbaluwa wulira bwino
Nze ggwe bw'obula ombuza appetite
Omala kulabika olwo nendya ku mmere
Yes you don't know what you do to me inside
Wooba wooli nsirika bw'obula nenkuba enddele

(Chorus)

Onsinze kagobako (iya)
Ompangudde era kano kagobako (iya iya)
Tolumya nnyo kagobako (iya)
Eky'okwekweka tokiremerako (iya iya)
Kano kagobako
Kagobako (iya)
Tewekweka kuba kano kagobako (iya iya)
Bambi tobula kano kagobako (iya)
Amaaso gandi mu ngalo njoya kulabako (iya iya)
Kagobako

(Verse 2)

Mukwano onyumisa emboozi
Ggwe wotali bali banyumya mandaazi
Ebyo omulungi by'okuba pose
Osaana kukweka mabega wa mwezi
Ndibalwanya, okikola otya ndibalwanya
Buli omu ayagala kukuliraana
Sikugaba era nsaba tebatawaana, my bae eh eh
Wamegga, walumya, wagalika (wagalika)
Mu kintu ky'okulungiwa watabuka (omutima)
Wasala, wayuza, nayulika (nayulika)
Eno wanzita dda omwooyo gwewavunika

(Chorus)

Onsinze kagobako (iya)
Ompangudde era kano kagobako (iya iya)
Tolumya nnyo kagobako (iya)
Eky'okwekweka tokiremerako (iya iya)
Kano kagobako
Kagobako (iya)
Tewekweka kuba kano kagobako (iya iya)
Bambi tobula kano kagobako (iya)
Amaaso gandi mu ngalo njoya kulabako (iya iya)
Kagobako

(Verse 3)

Guno omutima wankola bubi ogutwaala
Ah toseka mukwano tokodaala
Ebirowoozo bambi obireka bipaala
Nze woowe yaaye, kano kagobako
Nze ggwe bw'obula ombuza appetite
Omala kulabika olwo nendya ku mmere
Yes you don't know what you do to me inside
Wooba wooli nsirika bw'obula nenkuba enddele
Mukwano onyumisa emboozi
Ggwe wotali bali banyumya mandaazi
Ebyo omulungi by'okuba pose
Osaana kukweka mabega wa mwezi

(Chorus)

Onsinze kagobako (iya)
Ompangudde era kano kagobako (iya iya)
Tolumya nnyo kagobako (iya)
Eky'okwekweka tokiremerako (iya iya)
Kano kagobako
Kagobako (iya)
Tewekweka kuba kano kagobako (iya iya)
Bambi tobula kano kagobako (iya)
Amaaso gandi mu ngalo njoya kulabako (iya iya)
Kagobako

(Outro)

JahLive



About the song "Kagobako"

"Kagobako" is a song by Spice Diana. It was produced by Bassboi at JahLive studios, and released on March 25, 2025 through Source Management.