0:00
3:02
Now playing: Tonefulira

Tonefulira Lyrics by Sylver Kyagulanyi


(Intro)

Tu lu lu lu lu lu eeeh!

(Verse 1)

Ekimuli kyange maze okukinoga
Ekigambo kyange maze okukikuwa
Olugendo lwange ndutuuse wano
Olusigadde kandutambule naawe
Ebisenge by'omutima gwange mbiguddewo n'ebisumuluzo bibyo nkuwadde
Essaala y'obulamu bwange esigadde emu
Kukuumagana paka enviri nga nvi

(Chorus)

Naye tonefulira (aaaaah)
Ng'ate olaba nze nkwagadde nnyo
Tongiwanga (aaaaah)
Obulamu bwange n'obwonoona
Newaddeyo okukwagala
Mungeri era ematiza
Newaddeyo okuba naawe
Buli mbeera mukwano

Ooh, yeah, ooh yi
Ooh ooh oh, oh yeah

(Verse 2)

Sibimanyi ebyo nti oba ate kulwana, ah (nedda nedda)
Ne mukwano gwange oli anjulira
Kale ne bwenyiiga nze muli nsonyiwa
Kuba tuli bantu ssi ba malaika, ah
Enguudo z'obulamu bwange nterezeza
Otambuliremu wegazanye
Ekyapa ky'omutima mpandisemu
Erinya lyo nkuwadde okitwale

(Chorus)

Naye tonefulira (aaaaah)
Ng'ate olaba nze nkwagadde nnyo
Tongiwanga (aaaaah)
Obulamu bwange n'obwonoona
Newaddeyo okukwagala
Mungeri era ematiza
Newaddeyo okuba naawe
Buli mbeera mukwano

(Chorus)

Naye tonefulira (aaaaah)
Ng'ate olaba nze nkwagadde nnyo
Tongiwanga (aaaaah)
Obulamu bwange n'obwonoona
Newaddeyo okukwagala
Mungeri era ematiza
Newaddeyo okuba naawe
Buli mbeera mukwano, yeah

(Bridge)

Kyoka nno bambi
Nga tuvudde kwebyo
Laba nsiimye nnyo kubanga b'olesse bangi abalala
Nze ninga awangudde akalulu
Sikyenyoma onyambye nnyo

(Chorus)

Kyoka tonefulira (aaaaah) (tewefula bambi)
Ng'ate olaba nze nkwagadde nnyo (tonswaza)
Tongiwanga (aaaaah)
Obulamu bwange n'obwonoona
Newaddeyo okukwagala
Mungeri era ematiza (tonswaza bambi)
Newaddeyo okuba naawe
Buli mbeera mukwano, yeah

(Chorus)

Tonefulira (aaaaah) (tewefula nze)
Ng'ate olaba nze nkwagadde nnyo (tewefula)
Tongiwanga (aaaaah) (tongiwanga bambi)
Obulamu bwange n'obwonoona
Newaddeyo okukwagala
Mungeri era ematiza (tewekyanga bambi)
Newaddeyo okuba naawe (ooh yeah)
Buli mbeera mukwano, yeah

(Outro)

Ooh ooh
Ohh nana nana
Tewekyanga bambi
Nze neswala
Tewekyanga bambi
Ate n'onswaza
Nga nkwagadde
Nanana eh
Nkwagadde