Ensonga nnyingi ezindeetera okwenyumiriza Mu by’obuwangwa by’ensibukamu Nsibuka mu Bwakabaka bwa Buganda Ewa Ssaabasajja Muwenda Mutebi Eyo gy’osanga abantu ab’empisa ennungi Abaaniriza, k’abeere muyise Kyova olaba buli ggwanga tubeera nalyo Tukola nabo, tubonga nabo Ebitusanyusa tuzinira wamu Sso nga n’ebitunyiga nabyo tukaabira wamu Kabaka waffe ke kabonero akalaga nti Katonda ne Buganda omwoyo gumu bweguti
Nnyimbira Kabaka wange Muwenda Mutebi ali eyo e Mmengo Temunnenya kuyimba kannyimbe Ate oba omwana wa Muteesa alamula, eh! Bannange nnyimbira Kabaka wange Muwenda Mutebi ali eyo e Mmengo Temunnenya kuvimba kanvimbe Ate oba omwana wa Muteesa alamula, wooyi
N’ayimba ntya nze ne nnemwa okutenda Kabaka wa Buganda amagero? Lw’asiimye n’abonekako gye tuli ne tusanyuka Ffenna kuva ku muto ppaka ku mukadde N’oluusi tumutimba mu bifaananyi Ne ku mamotoka atamulina taba ku mulembe Olwo ne tusagambiza kubanga Omwana wa Muteesa Luwangula, atudde alamula, wooyi Omusaayi gw’alina gwe gwa Ssekabaka Muteesa eyasookera ddala Oli y’eyawandiika ebbaluwa eyayita abazungu Okuleeta, buli kimu kye tulabako Era y’ebbaluwa eyo eya Muteesa omuberyeberye Eyajuna Buganda ne Uganda yonna Kati ffe abazzukulu b’abo abaabisookamu Bwe tweyagala, tegubeera musango Era kye tuva tufuba okulaba nti Ekitiibwa kya Buganda Kisigalawo emyaka bukadde Kati buli mwana wa Buganda eyo gy’otambulira Manya nti okiikirira Buganda yattu Jjukira bajjajjaffe, bali abaatusookawo Baayagalanga nnyo ensi yaabwe kati nange
Nnyimbira Kabaka wange (Nnyimbira Kabaka wange) Muwenda Mutebi ali eyo e Mmengo (Eh gy’ali eyo e Mmengo) Temunnenya kuyimba kannyimbe (Hi hi hi hi) Ate oba omwana wa Muteesa alamula, eh! Bannange nnyimbira Kabaka wange (Nnyimbira Kabaka wange eh) Muwenda Mutebi ali eyo e Mmengo (Gy’ali bbaffe alamula) Temunnenya kuvimba kanvimbe Ate oba omwana wa Muteesa alamula, wooyi
Kati manya ennono n’empisa ez’eggwanga lyo Era n’abaana b’olina obayigirize Olwo tukuume eby’obuwangwa bye twasangawo Era n’ebyayonooneka tubitereeze Ate tukole na maanyi tuzimbe Buganda empya Eryesiimisa abo abaliddawo Kati bw’oba oli eyo, ng’oli mwana wa Buganda Osaanye omanye Oba wano oba ebweru, omwoyo gwa Buganda Sigala nagwo N’abaana mubabuulire, nti Ekitiibwa kya Buganda Kyava dda Era buli omu Ekika kye kiba n’obuvunaanyizibwa N’omulimu gwe kikola kuva dda Ate ku mulembe guno Omutebi, twesiimye nnyo Kubanga Bbeene yagukwasa ffe bavubuka Era ffe bwe tuba tukola, ekituwa essanyu Kwe kumanya nti Omutanda waffe gy’ali aluŋŋamye
Nnyimbira Kabaka wange (eeh) Muwenda Mutebi ali eyo e Mmengo (Gy’ali atudde e Mmengo) Temunnenya kuyimba kannyimbe (Nze mundeke neetale) Ate oba omwana wa Muteesa alamula, eh! (Hi hi hi hi) Bannange nnyimbira Kabaka wange (Nnyimbira Kabaka wange) Muwenda Mutebi ali eyo e Mmengo (Mundeke neejage) Temunnenya kuvimba kanvimbe Ate oba omwana wa Muteesa alamula, wooyi (Obuganda buladde)
Nnyimbira Kabaka wange Muwenda Mutebi ali eyo e Mmengo (Eh gy’ali Kabaka wange) Temunnenya kuyimba kannyimbe (Nze mundeke neetale) Ate oba omwana wa Muteesa alamula, eh! (Kannyimbire Omutanda wange) Bannange nnyimbira Kabaka wange (Kannyimbire ku Kabaka wange nange) Muwenda Mutebi ali eyo e Mmengo (Nnyimbire Omutanda wange) Temunnenya kuvimba kanvimbe (Hi hi hi hi) Ate oba omwana wa Muteesa alamula