NABULO Lyrics by Iryn Namubiru

This is for you maama Bukenya
From Gilbert
Maama maama, maama
Maama omulungi bwati
Maama, maama
Maama Mukama akukume
Mbadewo emyaka mingi nga nina gwentunulira
Gyetwava mubwavu munakku nga bangi abatusekerera
Naguma nanjola, nga ninga kabiritike, kamu
Abaseka ne baseka oguzina nafungiza, alime
Mu biseera ebyo ebitali byangu eby'entalo ebizibu
Nga olusi zivuga, mu mitala naye tewasula Ngozi
N'ebindi bingi, byewakola mbewo sibyogera (binkabya)
Bamaama bangi, abali eyo naye asinga gwe (taliyo!)
Era nze bwenkwagala, bwenakwagala
Era ndikwagala paka paka
Nabulo ne bwokadiwa otya obulungibwo gwe ku nze (tebukadiwa)
Ne bwoliba ogenze wa, ndisigala ndi nawe (maama wange)
Nze simanyi na kyendikola, omanye nga bwenkwagala (mu mutima gwange)

Yegwe eyabeerawo omulungi omulenziwo omu bwenti
Walera n'owelera, tewakoma
Ne benzadde n'oleera
Eyali afudde, ng'era buli omu nga aweddemu essuubi
Byebyo byengamba byesagala na kwogerako, binkabya! (Binkabya)
Nze Bukenya kyendi (uh)
Ebitibwa mwendi (uh aah)
Ndaba gwe maama (uh ah)
Ate era nkimanyi (uh aah)
Ogenda kuba bulungi (uh aah)
N'abakusabira bangi (uh aah)
(Bangi nyo)
Kati ndaba oli awo, oh mukwano amaanyi gakuwedemu
Abakwagala bangi nyo maama
Era nabo bagamba kimu
Nti oyo ajja kuba bulungi lwakuba, ffena tumwagala paka paka
Nabulo ne bwokadiwa otya obulungibwo gwe ku nze (tebukadiwa)
Ne bwoliba ogenze wa, ndisigala ndi nawe (maama wange)
Nze simanyi na kyendikola, omanye nga bwenkwagala (mu mutima gwange)
Nabulo ne bwokadiwa otya obulungibwo gwe ku nze (tebukadiwa)
Ne bwoliba ogenze wa, ndisigala ndi nawe (maama wange)
Nze simanyi na kyendikola, omanye nga bwenkwagala (mu mutima gwange)
Kati bino ebisembayo, mukwano
Maama wange omulungi
Ebintu byokoze mu nsi eno
Ne Mukama Katonda abisimye
Y'ensonga lwaki akukumye
N'otuuka mu jjino emyaka
Emikisa gy'olina mu nsi eno, gyirisigala nawe Franscisca!
Nkwagala nyo, oh omukwano maama wange (Franscisca!)
Ne bazzukulubo abalungi, n'olera gwe (Franscisca!)
Bakwagala nyo, nabo era jjaja yabwe (Franscisca!)
Bakwagala nyo, abe e Muduma, Nabulo wabwe (Franscisca!)
Baaba Nansamba, naye ali eyo, akwagala nyo (Franscisca!)
Nabulo ne bwokadiwa otya obulungibwo gwe ku nze (tebukadiwa)
Ne bwoliba ogenze wa, ndisigala ndi nawe (maama wange)
Nze simanyi na kyendikola, omanye nga bwenkwagala (mu mutima gwange)
Nabulo ne bwokadiwa otya obulungibwo gwe ku nze (tebukadiwa)
Ne bwoliba ogenze wa, ndisigala ndi nawe (maama wange)
Nze simanyi na kyendikola, omanye nga bwenkwagala (mu mutima gwange)
Nabulo
Nabulo oh
Nabulo maama
Maama, Nabulo
Nkwagala nyo, oh oh
Maama, maama
Nkwagala nze