Kulwange Lyrics by Judith Babirye


Baakutwala
Ngediga ewomubaazi
Wasirika songa tewalina musango
Waganiibwa ekifo mubantubo
Kulwange wafuuka ekikolimo
Wandiyise bamalayika okuyamba
Naye wamanya bwobayita nganze nfa
Newewayo mubulumi era munsonyi
Kulwange, nofuuka ekikolimo
Kulwange wafuuka ekikolimo
Noofa munsonyi ezitagambika
Wafuuka sadaka eyamponya
Omutima guguno gukyuuse
Kulwange wafuuka ekikolimo
Noofa munsonyi ezitagambika
Wafuuka sadaka eyamponya
Obulamu bubuno nsaba onkozese
Bavuma, bakuba nebayambula
Omulunji songa tewayina kunenyezebwa
Omutukuvu, owekisa owegonjebwa, wafa oli bwerere
Wafuuka ekivume mpone
Kulwange wafuuka ekikolimo
Noofa munsonyi ezitagambika
Wafuuka sadaka eyamponya
Omutima guguno gukyuuse
Kulwange wafuuka ekikolimo
Noofa munsonyi ezitagambika
Wafuuka sadaka eyamponya
Obulamu bubuno nsaba onkozese
Katonda, yatunulira omwanawe
Ngabakubye, kitawe atonya musaayi
Mubusungu, eno ensi yali ajizingako
Naye esaala, jyeyakola yeyamponya
Basonyiwe tebamanyi kyebakola, Taata
Sonyiwa tebamanyi kyebakola
Basonyiwe tebamanyi kyebakola, Taata
Sonyiwa tebamanyi kyebakola
Kulwange wafuuka ekikolimo
Noofa munsonyi ezitagambika
Wafuuka sadaka eyamponya
Omutima guguno gukyuuse
Kulwange wafuuka ekikolimo
Noofa munsonyi ezitagambika
Wafuuka sadaka eyamponya
Obulamu bubuno nsaba onkozese
Kulwange wafuuka ekikolimo
Noofa munsonyi ezitagambika
Wafuuka sadaka eyamponya
Omutima guguno gukyuuse