Eeeh nali muto kati nkuze Ne bye ndabye bingi Ssiryelabira luli olunaku Lwe twaziika mummy ne daddy Emiranga ngijjukira Abantu basaasira ffe Buliba butya obwana bwa Betty? Obwana bwe abulese buto Nasooba mpola ne ŋenda mu bitooke Ewa jajja ne nkwegayirira Mukama yadde mummy agenze Ne nkusaba onfuukire mummy Ewataali daddy Taata ne nsaba onfuukire daddy Era wawulira, wawulira Kati laba gyendi
Ddala yali ani oyo eyampanirira Nga mummy agenze? Bamuyita Yesu Era yali ono oyo eyafuuka Daddy awataali daddy? Bamuyita Yesu Yali ani oyo eyannyamba ewataali ssente? Bamuyita Yesu Era yali ani oyo eyafuuka Umbrella ng’enkuba etonnya? Bamuyita Yesu Ooh oh, eeh, oh ooh Bamuyita Yesu Bamuyita Yesu
Eno gyetuli wanene N’ebitulumba binene Laba gyetuli wakulu N’ebitulumba bikulu Oba ng’omuyembe ogwengedde waggulu ku muti Buli agulaba ayagala kugunoga N’alina enkonyogo ayagala kugukuba Ndabye emitego mingi Ndabye obusaale bungi Ssiryerabira guno omwaka oguwedde Sitaani yasindika Yasindika eggana ly’abawala Buli akulaba ayagala kumuwasa N’akuzaala ayagala kumuwasa N’otya, n’otya, eh eh eh! Mulala yagamba ndi wa kumuwasa Bwe ssimuwasa nti ngya kufa enkya N’agattako no n’okunvuma N’okuwemula n’okweroza Yali serious ayagala kumuwasa Laba emizimu egiramuza future yange! Nalaba omubi Ng’amalawo obulamu bwange Nange natya Nali manyi mpedde Nalaba omubi Ng’amalawo future yange
Naye yali ani oyo eyampanirira Bwe nali ntidde? Bamuyita Yesu Era yali ono oyo eyakwata Emmundu n’akuba omulabe? Bamuyita Yesu Era yali ani oyo eyakasuka omukono n’ampanirira? Bamuyita Yesu Yali ani oyo tuwanike emikono tumuwe ettendo? Bamuyita Yesu Ooh oh, eeh, oh ooh Bamuyita Yesu Ooh oh, eeh, oh ooh Bamuyita Yesu
Kati maama ndagula gy’oli Gwe totya bigugumuka? Teri kya kulwanyisa gy’oli ekinaalaba omukisa Ssiryerabira lwe twalina ebbanja Gwe buuza abantu b’e Nansana Abantu baajerega ffe Kakanisa kaabwe kaweddewo luno Bukyanga bwepanka Obulokole bukyanga bwewaana Nange natya kkanisa nali manyi ewedde! Nange natya, buuza ab’e Nansana Kati maama ndagula gy’oli Teri kya kulwanyisa kiweesebbwa gy’oli Gwe ky’okola weesige Mukama Mwesige totya bigugumuka Kabaloge, kabaloge Teri ddogo eri Israel Basooze, kabavume Mukama anaabeera naawe Ndabye emitego mingi Ndabye n’obusaale nga bungi Mukama abadde nange Kati naawe anaabeera naawe Tuyimbe, tusinze Tusinze
Ddala yali ani oyo eyampanirira Bwe nali ntidde? Bamuyita Yesu Tukusinza Yesu Tukusinza Taata Tukusinza Yesu Tukusinza Taata Yerere maama Yerere maama Yerere Yerere maama