Verse 1: (Lee) Ebintu bya laavu binyuma nnyo Nga ssi bya bwavu Omukwano ogulimu amaja Temuba biwanvu Bu lips bwokissinga Bwetaaga feeding Okulya ssente ssi kulya mwaana Wama baby nze nakolamu Obulamu ne bukyukamu Mbadde nsaba nkutekemu yeah aah Take this for your papa And this for your mama Take this for your ex-boyfriend, yeah eh
Chorus: Ebintu by’amaanyi by’amaanyi Atalina maanyi tafumita lindaazi Babe nze nina amaanyi Ebintu bya laavu bya mmaali Nga tolina maali oba okivuddemu Aah nze ndi w’amaanyi
Verse 2: (Bobby) Ebigambo tebigula mata Atalina nsimbi tazimba waka Oyogera bingi ffe tukusekerera Tetulina bigambo tusasulanga What do you like my girl? Omutima gukubira ku gwe all the time Abawala abalala no you de like Saagala birala kuba you fantasize, eeh Uncontrollable Omutima gukubira kw’alinawo Atalina kalina n’olwekyo y’asikawo High emotoka y’avugawo Kibunoomu touchinga ku nkola yo
Chorus: Ebintu by’amaanyi by’amaanyi Atalina maanyi tafumita lindaazi Babe nze nina amaanyi Ebintu bya laavu bya mmaali Nga tolina mmaali oba okivuddemu Aah nze ndi w’amaanyi
Verse 3: (Julio) Ssente weekuba egonzaawo Ne bw’oba olina abateesi ba lo Ebintu bya laavu binyuma nnyo Naddala ng’olina ky’olinawo Kyusaamu Atalina seesaamu Alina yongezaamu Bwotamuwa adduka mangu Kati kola nnyo kye nkubuulira Mmaaliyo y’ekweyimirira Tonyiiga olw’abazirina Abazirina be bakazimbaamu
Chorus: Ebintu by’amaanyi by’amaanyi Atalina maanyi tafumita lindaazi Babe nze nina amaanyi Ebintu bya laavu bya mmaali Nga tolina mmaali oba okivuddemu Aah nze ndi w’amaanyi