Wandiikira ko akawulukutu akaluma m'atumbi, kale Kyakakirako akavunza akato, akakusiwa ng'emambya tesala N'otalumibwa ki-wound kya mukwano, kisiwa ng'ekiyiwemu omunnyo Gwe wama omukwano guluma, gutusuza ku tebukye Naddala nga gw'oyagala akwewala, akuli wala Mu birooto anti no mudingana, lw'otomulabyeko nga tewebaka Ebirowoozo n'omutima nga yabyefuga, nakulekamu gwe kalozolera Omuntu ng'oyo aba yakutwala, ooh yo Ekyo kyebayita addiction omuntu omwagala, sorrow portion
Nkuvunaana lwa mutima gwange, kale okugwefuga oh (nkuvunaana) Mu birooto byange mw'osalimbira bwenebaka, nakyo (nkuvunaana) Otulo ne tubula, emmere nesirya kuba gwe (nkuvunaana) Nkuvunaana lwa mutima gwange kuguganira, oh (nkuvunaana)
Unhaa, mmm Singa omutima yali glass, wandi gulabye munda Munda muli mwewegirisiza, ng'ekigo ky'entula Odamuli ontula butebe, no kiza nyinimu entanama Ate wagenda n'onsensera mu musaayi, nkuwulira muli oserengeta Nakwazika mutima kunziriza, kati gwe wesomye oyagala guganira Otere ondek'awo kiwuduwudu naye nga lwaki, kal'ombonyabonya Okukwagala sakola nsobi, wabula nakutegera Nze nawe tugolobe buyuba, kuba obusanafu busenguka Bw'oba balugu laba nze mutuba, ofunye kwewekwata
Nkuvunaana lwa mutima gwange, kale okugwefuga oh (nkuvunaana) Mu birooto byange mw'osalimbira bwenebaka, nakyo (nkuvunaana) Otulo ne tubula, emmere nesirya kuba gwe (nkuvunaana) Nkuvunaana lwa mutima gwange kuguganira, oh (nkuvunaana)
Otulo tubula, ne ntula ne ndozoleera eyo oo-ooh Yegw'ankola bino byendi, nga sikyetegera naye (nkuvunaana) Wadira omutima nogutwala waleka kiwuduwudu, eno ewange (nkuvunaana) Nkulowozako everyday, love you night and day naye (nkuvunaana) Do you think of me cause I think of you, everyday (nkuvunaana) You're in my future, my everything, you baibe (nkuvunaana) Wandya omutima n'obwongo, Ebirowoozo n'otwala gy'oli (nkuvunaana) Yegwe njagala, kuba gwe antegera naye (nkuvunaana) Omukwano gunuma, wotali dear lwaki (nkuvunaana)