Abakyala Balabye Lyrics by Jamal Wasswa


Uuuh uh
Aaah

Abakyala balabye (balabye)
Bamaama balabye eh (balabye)
Nkugambye balabye eh (balabye)
Abakyala balabye eh (balabye)

Ne bwaba yasoma atya
Abamu tebamubalaamu ka buntu
Ng’olwo kwotadde, buli asanze okukwana
Ye n’amala agaana (n’agaana)
Abamu ensonyi bazifuula busungu
Nti oyo malaaya, mbadde nnyamba buyambi!
Era nga bw’omanyi (ooh)
N’abakyala bayiiya
Bakola ensimbi, abeereko bw’anaaba
Naye bweziwera, nti oyo malaaya (malaaya)
Abadde yeetunda
Ooh ohga balabye, nga balabye!

Abakyala balabye (balabye)
Bamaama balabye eh (balabye)
Nkugambye balabye eh (balabye)
Abakyala balabye eh (balabye)

Emirimu bafuna gya wansi
Kyova olaba (kyova olaba)
Abamu okubakuza, waliwo byebabasaba
Balina n’enjogera
Emmese nebwegejja etya (egejja etya)
Naye kyembuuza
Yo kkapa yenkana wa?
Ndaba tekiwa makulu (makulu)
Okusiiya buli gw’osanze (gw’osanze)
Tubawe ekitiibwa, aah ooh oh
Beebo abatulabirira bambi (oh)
Nebatulabirira (oh)
Oooh oh

Abakyala balabye (balabye)
Bamaama balabye eh (balabye)
Nkugambye balabye eh (balabye)
Abakyala balabye eh (balabye)

Oh! (oh!)
Nze ŋŋamba basaana ekitiibwa (ekitiibwa)
Abo abakola buli kamu nga tebeeganya ooh oh
Uh, ooh
Respect them all the mothers (mothers)
Abakola nga tebatudde eeh eh (eeeh)

Balabye eh (balabye)
Nkugambye balabye eh (balabye)
Bamaama balabye eh eh (balabye)
Eeeh eh (balabye)

Abakyala balabye (balabye)
Bamaama balabye eh (balabye)
Nkugambye balabye eh (balabye)
Abakyala balabye eh (balabye)