Ntekewo introduction zange zzino ezabulijjo eziri simple
Simanya bampulira
Prophet ne Musumba
Fangone
Ensi teri ajja kugikungula
Kyovolaba ffe tugilyaako makoola
Gwe alowooza nti ojja kugikungula olimba
(Ogenda kuffa ogileke)
Ensi teri ajja kugikungula
Kyovolaba ffe tugilyaako makoola
Gwe alowooza nti ojja kugikungula olimba
(Ogenda kuffa ogileke)
Kale, Bano baneneŋŋana, bali bevuma
Bano balumaŋŋana, bali bettema
Nanonya ekibakuddeko wire nze kyambula
Mubagambe ensi ffena etumala
Kale, sente zoofuna ommala kulumya balala
Tobalirira bulamu bwabalala
Wefudde alina oluganda ku Katonda
Olimba ensi ffena etumala
Oli yakuba omuyaye paver
Namala namutwalako Samsung
Namala namugamba nze sitya danger
Mugambe ababbi, ennaku zibba anna
Kale, ensi teri ajja kugikungula
Kyovolaba ffe tugilyaako makoola
Gwe alowooza nti ojja kugikungula olimba
(Ogenda kuffa ogileke)
Ensi teri ajja kugikungula
Kyovolaba ffe tugilyaako makoola
Gwe alowooza nti ojja kugikungula olimba
(Ogenda kuffa ogileke)
Gwe, kimanye ettaka mu ttaka
Atte evvu mu vvu
Bwemba njagala lumonde tompa kivvuvu
Nkimanyi mwateera amammundu ne mmundu
But this time muffe ku bantu
Mwe, ab'amatteeka
Abakola amatteeka
Abakwasiza amatteeka, iiy!
Mubagambe nti ensi ffenna etumala
Bwowulira obubbi nga bakutte ku wuwo
Nooli bwawulira nga bakutte ku wuwe
Office gyolimu togikozessa bubbi
Kubanga ensi ffenna etumala
Kale, ensi teri ajja kugikungula
Kyovolaba ffe tugilyaako makoola
Gwe alowooza nti ojja kugikungula olimba
(Ogenda kuffa ogileke)
Ensi teri ajja kugikungula
Kyovolaba ffe tugilyaako makoola
Gwe alowooza nti ojja kugikungula olimba
(Ogenda kuffa ogileke)
Wamma, tuli mu bizibu banno baasama
Abantu bali mu nnaku mw'enno mwesessa
Mwazze ku lumbe oba kugeya ba mulekwa
Nti n'obuugi bwabwe tebunnoze mata
Oli yabuzabuza ssente za ba mulekwa
Naabasuubiza ajja kubalabirira
Ababe basoma aba mulekwa tebasoma
Mumugambe ensi ffenna etumala
Wamma, naguze data bundle jjo
Samukozeseza kuvva jjo
Njagadde omukozesa bamusazeko
Mubagambe Katonda abalaba
Wamma, to all mi di mi concern
And dis tyme no tyme ma no son
Mutuga mufela muloga, babagambe
Musembye nakyo
Gwe producer, eno style kki
Luga ragga reggae dancehall ?
Oba hip hop, tewali, siri ngalonno