0:00
3:02
Now playing: Suubi

Suubi Lyrics by Chosen Becky


(intro)

Oooooh yeah
Iye iye (Brian Beats)

(verse)

Wabeerawo akaseera
Nowulira ng’okooye
Ng’embeera ekuyinze
Nolaba nga ensi ekomye
Nga buli lwosirika
Ensi olaba nga agirimu obwomu
Nebwewekyusa
Osigala ng’ali ku kisenge
Naabo bonyumiza
Bakudako eyo nebakusekerera, ha
Olwo nenzijukira
Mukama yegwe atandekulira
Ku mavivi nze nenzikakana
Byona nembikwasa gwe eyategeka
Byona obilaba

(chorus)

Nsigaza gwe
Gwe suubi lyange (suubi suubi)
Ndirina mugwe
Munange oli omu bwoti antegeera bambi
Nsigaza gwe
Gwe suubi lyange (suubi suubi)
Ndirina mugwe
Gwe Mukama

(verse)

Buli lukya nkeera
Nze era
Nentwalayo akabanga
Nensaba gwe era
Ontemereyo oluwenda
Eno ensi gyewawunda
Wagiwunda ngazi, naye oluusi efunda
Bannafe bewagamba
Okutwaagala nga bwebeyagala bo bekyusa
Ogamba ndiga kumbe misege
Mu maliba gaazo ooh
Omutuufu aliwa bibuzabuza
Mpulira ntidde nyo

(chorus)

Nsigaza gwe
Gwe suubi lyange (suubi suubi)
Ndirina mugwe
Munange oli omu bwoti antegeera bambi
Nsigaza gwe
Gwe suubi lyange (suubi suubi)
Ndirina mugwe
Gwe Mukama

(bridge)

Ogenda noyita mu mbeera
Nga buli omu akwesamba
Newabawo akaseera nga negwoyita tayitaba
Naye ye aberawo
Aberawo
Aberawo ooooh, heeeh

(chorus)

Nsigaza gwe
Gwe suubi lyange (suubi suubi)
Ndirina mugwe
Munange oli omu bwoti antegeera bambi
Nsigaza gwe
Gwe suubi lyange (suubi suubi)
Ndirina mugwe
Gwe Mukama

(outro)

Yegwe anyamba
Yegwe Yesu atankoowa
Nze nina gwe
Ooh Yesu nina gwe