Follow @pearltunes.com on TikTok
0:00
3:02
Now playing: Temumanyi Kyemusiga

Temumanyi Kyemusiga Lyrics by Chosen Becky


Hmmm
Brian Beats
Hu uuuh

Okukuza omwana obw’omu
Bwe nkigeza ku lutalo nsobola okubulwa ampakanya
Mukazi munnange atannakiraba
Nkusabira nnyo oleme okukifuna
Bakuwa n’emmere n’olema okulya
Kubanga fees za Jib tonnazifuna
Ogenda n’okuba ekyeyo n’okoowa
Naye nga bw’olowoozaamu ku bato bali
Gwe maama
Yeggwe taata, oh
Yeggwe jjajja, eh
Yeggwe baaba
Buli single mother gyoli oli muzira
Ffe tumanyi eyo ze tulwana entalo

Abasajja
Abaleka abakazi ne tutoba n’abaana
Temumanyi kye musiga!
Abasajja
Mbalinako obusungu bungi
Muliba mulaba kaki naye kale!
Oooh abasajja
Abaleka abakazi ne tutoba n’abaana
Temumanyi kye musiga!
Abasajja
Mbalinako obusungu bungi (bungi)
Muliba mulaba kaki naye kale! (kale le le)

Ogenda n’olowooza obaleka ogende batobe n’amabujje ago
Naye omutima gw’ekizadde era
Bw’olowooza gy’obuleka nga wa?
N’ofuba ne bulya
Gwe nga n’olumu ogisula
N’oba ng’eyadiba
Nga gwewazaalamu yawasa, ha!
N’obala emyaka egyo gy’oyokezza
Ne bakumalira obudde
Buli single mother gyoli oli muzira
Ffe tumanyi eyo ze tulwana entalo

Abasajja
Abaleka abakazi ne tutoba n’abaana
Temumanyi kye musiga!
Abasajja
Mbalinako obusungu bungi
Muliba mulaba kaki naye kale!
Oooh abasajja
Abaleka abakazi ne tutoba n’abaana (eeh)
Temumanyi kye musiga!
Abasajja
Mbalinako obusungu bungi (bungi)
Muliba mulaba kaki naye kale! (kale le le)

Agumira akagoye akamu bwekati
Ng’afuba busome bambi
Omuzira w’ensi eno nze gwe ndaba
Ye mukazi atoba n’omwana obw’omu

Ne bamuyita malaaya bali
Kuba afuba obwo bufune kyebulya baaba
Omuzira w’ensi eno nze gwe ndaba
Ye mukazi atoba n’omwana obw’omu

Balala bafiirayo eyo ku by’eyo
Nga ky’afiirira baana bambi
Omuzira w’ensi eno nze gwe ndaba
Ye mukazi atoba n’omwana obw’omu

Omuzira mu bazira nze gwe mmanyi
Ye mukazi atoba n’omwana obw’omu bambi we
Omuzira w’ensi eno nze gwe ndaba (eeeh)
Ye mukazi atoba n’omwana obw’omu

Tutobe, tugume
Bakyala tetwekaanya
Ffe musingi gw’ensi eno
Omuzira w’ensi eno nze gwe ndaba (yiii)
Ye mukazi atoba n’omwana obw’omu (eeh yeah eh)

Tutobe, tugume
Bakyala tetwekaanya
Ffe musingi gw’ensi eno
Omuzira w’ensi eno nze gwe ndaba
Ye mukazi atoba n’omwana obw’omu



About the song "Temumanyi Kyemusiga"

"Temumanyi Kyemusiga" is a song written by Ssozi Mo, performed by Chosen Becky, and produced by Brian Beats. It was released on February 28, 2025. The music video for the song was directed by Patrick Miles.