(Intro)
Waguan
Bassboi
(Verse 1)
Yo! Ntuuse Feffe Bu
Buuza Shabba Du
What am gonna do
Bwe nkwata ku ŋŋoma eyo ebeera bigger view
Ng'omwana wa S.2 nga assoma H2
Mpulira kati nkuze
Let me do what I want to do
Cut the cheap talk
Cut the shit talk
Cut the bitch talk
Sinoonya likes ku TikTok
This a deep talk
This a real talk
This the way you move your head and then you have to move your tiptoe
Mbalamusiza ba ssebo ne ba nnyabo ku TV
Amanya Feffe Bussi rapper asingayo ye CV
Kitibwa kya Katonda gwe nkubira wansi amavivi
Nsanyuse okunkyaazako ku FBM TV
(Interlude)
Ha, naye mwana otuwambye, anyway
How are you doing Feffe Bussi
Ogamba otya
Where do you come from, abatakumanyi
Bagambe gy'ova, wakulirawa
Ate embeera zo ziri zitya, Feffe
(Verse 2)
Yes, uhh
Original names yenze Mukiza Frank
Nasomera mu masomero mangi I can't keep track
Nazalibwa mulago hospital ng'oli Mark
Nzalwa ya city ne njavulira mu park
Nva mu family mwana y'abaana bataano
Mu kula naffe embeera yali yakachwano
Rest in peace my sister mukwano
Rest in peace daddy, naffe gyetuli eno
Nkulidde Nabulagala Nakulabye ŋŋamba Kasubi
Mungu gye yanzijja nambikako akasubi
Bigambo bitono amaaso go ogalaba bulabi
Mpozi eyebasse era muzukkusa simububi
(Interlude)
Bambi
Anyway without wasting time Feffe Bussi
What do you think about drugs
Naddala mu entertainment industry
Ebilagala lagala bifuuse ebilagala lagala
What is your take about that
It's too bad man
(Verse 3)
Yo! Ekituufu drug nyingi nnyo mu buli price
Buli omu anywa kikye okusinzira ku size
Bano tebetaaga fridge okunywa ku ice (ako kapya)
Naye era teziyina gwezireka nga ali nice
Yawula omwenge akabanga nno ku plain
Akaddu, pills, ŋŋamba ne cocaine
Ayinayo owuwe eyavaako ye amanyi pain
Kuva ddi nga twetaaga drug to sustain
Nze nkiyita kumanya kutono ignorance
Okulowooza mbu drug egaba confidence
Ggwe atanaba mwana wekumire mu distance
Okuba owakabi wama tewetaaga substance
(Interlude)
I know
Wolan wolan wolan
Nga tetunaba na kugenda wala
Entalo zifuuse entalo
Entalo mwana saagala kwogera ku ntalo z'abantu
Kyogereko kato just for the sake of the viewers
(Verse 4)
Eve, ekisooka
Nze nali manyi entalo ziyina kuba za David Lutalo
Naye abayimbi bangi bwe besaanga yadde hello
Nze ŋŋamba abayimbi mwana tuyina kwekuba ŋŋoma
Ekyo bwe kikulema nze mba nkuyita kadoma (Katonda wange)
Ffe tuli basanyusa oba tuyite abakyamusa
Bwe tutuuka mu kiffo boyi ffe tukikyamusa
Tuli ba superstar oba tuyite ba star
Era bwokwata ku munyenye
Nze nga nkuta
(Interlude)
Bannange Feffe amasimu ganfuukidde amasimu
Anyways let me just have one caller
Mulekke kunyigira
Let me just have one caller
Akubuuzeyo ekibuuzo kimu kyoka
Hello!
(Verse 5)
Hello Feffe
Nze number one fan wo e'Nateete
Nkwagala nnyo nkusabira ne grammy ogirette
Feffe, wamma ali atya oyo mummy King
Ali atya King
Wamma kituufu ggwe daddy King
Uhh, kino ekibuuzo kyo nkikooye bannange
Nabagamba emmeka mbu oyo muyita bestie ewange (aaah)
Anyway, kati ekyo nakyo kiwedde bannange
N'omwana nno siwange
(Interlude)
Hahaha
Anyway Feffe watugamba nti nno ne ba bestie berya
Anyway, let's talk about politics in the music industry
Kuba nakyo kifuuse Kirala
(Verse 6)
Yes, uhh
First of all
What is politics
These are activities associated with the governance of a country
Era siraba buzibu kwenyigira mu nsonga za country
Naddala ng'oli citizen naawe mweyo country
Ekinuma, wano tetukyayinawo politics
Batuzanya bubbadi buyite politricks
Ova nga kumateeka nga gakola ku bamu mwana
Kyoka nga mateeka ga nsi yonna mwana
(Interlude)
Mhm!
Mwana Feffe ebintu by politics biri very complex
Tuveeyo tondetera mitawaana
What do you be doing in your leisure time
Nga toli na Bassboi mu studio
Toŋŋamba kusinika manyo Feffe
(Verse 7)
Yes!
Mu budde bwange obweddembe
Mba nsinika mannyo
Bwe kikuyisa obubi bambi kiba kibi nnyo
Yenze Feffe Bussi wo nno nanyi kazannyo
Ne rapper wo gw'otenda agamba nkuba nnyo
(Interlude)
Kyo kituufu Feffe
Okuba olinga laddu
Anyway it's been the miss party time Evelyn M!C
Mbadde nsaba ate osibule
Abalabi baffe aba FBM TV
Nga tonaba kusibula
(Outro)
Yes!
Tukole nnyo
Twesige Katonda ali above
Tujewo fitina mwana twelage nno love
Hate tewangulangako ne bwoli genda wa
Yenze Feffe Bussi wo akuwerawo ate nenseka
(Hahaha ... woyooo!)
We sign out
JahLive