Alibaawo Lyrics by Judith Babirye


Kati laba ensi eyuuga
Tewali amanyi wa gy’eraga
Ebinaabaawo olunaku lw’enkya
Tewali amanyi oba biki
Omutukuvu abaawo lwa kukkiriza
Amaaso ge nga gali ku Katonda
Aluŋŋamye ebigere w’alinnya
Amulise ekkubo gy’alaga

Alibaawo
Aliba wamu nange
Alimpisa mu ddungu
N’amponya enjaba ez’obusagwa
Alibaawo
Aliba wamu nange

Mukama alibeerawo okumpanirira
Ku lunaku nga mpita wali awatiisa (ooh, awatiisa)
Mukama (Mukama)
Aliba wamu (ooh ne bw’eriba enzikiza ekutte)
Ne bw’eriba enzikiza ekutte (ndyesiga Mukama wange)
Ndyesiga Mukama ne mpitawo (ndimukoowoola)
Ndimukoowoola (ndimukoowoola, ndimukoowoola)
Aliba wamu nange (Mukama alibeerawo okumpanirira)
Mukama alibeerawo okumpanirira (alibeerawo okumpanirira)
Ku lunaku nga mpita wali awatiisa (oh nga mpita wali awatiisa)
Mukanma (Mukama)
Aliba wamu nange (k’ebe enzikiza)
Ne bw’eriba enzikiza ekutte (ndyesiga Mukama)
Ndyesiga Mukama ne mpitawo (ooh ndimukoowoola)
Ndimukoowoola (ndimukoowoola abange)
Aliba wamu nange (ooh)

Oooh
Hmmm
Hmmm

Kati laba ensi eyuuga (ooh)
Tewali amanyi wa gy’eraga (wa gy’eraga)
Ebinaabaawo olunaku lw’enkya
Tewali amanyi oba biki (hmmm oba biki)
Naye, Omutukuvu abaawo lwa kukkiriza (ooh)
Amaaso ge nga gali ku Katonda (eeh aluŋŋamye)
Aluŋŋamye ebigere w’alinnya (amulise)
Amulise ekkubo gy’alaga (oooh)

Alibaawo (alibaawo, alibaawo, alibaawo)
Aliba wamu nange (ooh)
Mukama alimpisa mu ddungu
N’amponya enjaba ez’obusagwa enkambwe
Alibaawo
Aliba wamu nange

Mukama alibeerawo okumpanirira (oh)
Ku lunaku nga mpita wali awatiisa Mukama
Mukama (ddala Mukama, ddala Mukama)
Aliba wamu (oooh)
Ne bw’eriba enzikiza ekutte (ndyesiga Mukama wange)
Ndyesiga Mukama ne mpitawo (ooh ndyesiga Mukama)
Ndimukoowoola (oyo)
Aliba wamu nange (Mukama alibeerawo okumpanirira)
Mukama alibeerawo okumpanirira (abange, alimpanirira)
Ku lunaku nga mpita wali awatiisa (nga mpita wali, wali awatiisa)
Mukama (oyo Mukama)
Aliba wamu nange (ooh)
Ne bw’eriba enzikiza ekutte (ndimwesiga, mwesiga)
Ndyesiga Mukama ne mpitawo (ooh)
Ndimukoowoola (ndimukoowoola)
Aliba wamu nange (ooh oooh)

Mukama (ooh)
Mukama (eeh)
Aliba wamu nange (uuh)
Mukama (uuh)
Mukama (eeh)
Mukama
Aliba wamu nange
Eeh, eeeh
Mukama
Aliba wamu nange