0:00
3:02
Now playing: Maama

Maama Lyrics by Judith Babirye


Oyo ye maama, maama
Maama wange
Maama
Kano akayimba nkaweerezza ba maama bonna

Maama maama
Maama
Mu butuufu tolina duplicate (tolina duplicate)
Maama ndibeerawo ntya? (ooh)
Wootali nnyabo?
Maama tolina ssente maama (maama tolina ssente)
Maama tolina zzaabu nedda (maama tolina zzaabu)
Naye omukwano gwa maama, tegusangika

Maama watewaana nnyo (maama)
Nze okuba omuntu (maama)
Era wakola bingi (maama)
Okundabirira (maama)
Ye nze ndikuwa ki maama? (maama)
Maama ndikwebaza ntya? (maama)
Omukwano gwa maama, tegusangika
Maama azuukuka n’ekiro (maama)
Ensiri lwe zizze (maama)
Maama n’atewaana (maama)
Bambi n’abikka (maama)
Waakiri atunula n’akeesa (maama)
Gwe weebake mirembe (maama)
Oyo ye maama, maama atasangika
Maama wange maama

Maama
(Oli mukwano gwange maama)
Mu butuufu tolina duplicate
(Maama tolina duplicate)
Maama ndibeerawo ntya? (ooh)
Wootali nnyabo? (uuh)
Maama talina ssente maama
(Maama tolina ssente)
Abange talina zzaabu maama
(Maama tolina zzaabu, oh)
Naye omukwano gwa maama
(Omukwano)
Tegusangika

Malwaliro gye batuzaalira (maama)
Bingi ebibatuukako (maama)
Luno olutalo lw’okuzaala (maama)
Bamaama balufiiriddemu (maama)
Naye era maama (maama)
Ne bwaba ava mu bulamu bw’ensi (maama)
Olulaba ku kaana ke maama
Agenda asmilinga (tasangika)
Ye maama abeerawo (maama)
Ppaka ku ssaawa esembayo (maama)
Webagambira ab’emikwano (maama)
Nti embeera etweraliikirizza (maama)
Maama y’aleeta akatunda (maama)
N’akwata webenyinyala (maama)
Y’akuba omulanga (aaah tasangika)
Ng’alaba bambi otaawa
Maama wange maama

Maama
(Maama oli mukwano gwange maama)
Mu butuufu tolina duplicate
(Maama oli mukwano gwange maama)
Maama ndibeerawo ntya? (walera n’oweeka)
Wootali nnyabo? (maama)
Maama tolina ssente nedda
(Maama tolina ssente)
Maama tolina zzaabu
(Maama tolina zzaabu)
Maama maama maama
Naye omukwano gwa maama, tegusangika

Uh maama maama
Oli mukwano gwange maama
Maama
Maama
Oyo ye maama
Oyo ye maama
Abange
Omukwano tegusangika

Eh tomulinda kufa maama (maama)
Otwale ebimuli ku ntaana (maama)
Kale muwe akatono k’olinawo (maama)
Ng’akyali mulamu (maama)
Kuba maama lw’alikuvaako (maama)
Oliraba obuzibu mu nsi (maama)
Nga byonna bye wandimugambye (aaah)
Nga z’ezaanika (tasangika)
Ooh maama mugambe (maama)
Kati mubuulire (maama)
Bambi kwata essimu, omukubireko (maama)
Akimanye omwagala (maama)
Oyo nditwala bingi (maama)
Teyatuuka ka (maama)
Sso maama akatono k’omuwa ye (aaah)
Maama akasiima (tasangika)
Maama wange eeh

Maama
(Maama oli mukwano gwange)
Mu butuufu tolina duplicate
(Maama walera n’oweeka)
Maama ndibeerawo ntya?
(Maama n’osirisa ng’ankaaba n’ompeeka)
Wootali nnyabo? (Mukama maama wambikka)
Maama tolina ssente
(Weebale maama maama)
Maama tolina zzaabu
(Weebale maama)
Naye omukwano gwa maama (eeh)
Tegusangika
(Maama maama maama maama maama ….)

Maama
(Maama ndikwebaza ntya nze?)
Mu butuufu tolina duplicate
(Maama oli mukwano gwange maama)
Maama ndibeerawo ntya? (oh)
Wootali nnyabo?
(Weebale, maama Nnaalongo anzaala)
Maama tolina ssente
(Oh Nakirya eyankuza maama)
Maama tolina zzaabu (oh maama)
Naye omukwano gwa maama (maama)
Tegusangika (yee, maama Seroma munnange)

Maama
(Maama Nteemu munnange)
Mu butuufu tolina duplicate
(Nnaalongo Timber mu Ndeeba)
Maama ndibeerawo ntya?
(Maama Fridah Serwadda)
Wootali nnyabo?
(Maama wange maama)
Maama tolina ssente
(Maama maama maama…)
Maama tolina zzaabu (oh maama)
Naye omukwano gwa maama (maama)
Tegusangika