0:00
3:02
Now playing: Zaabu

Zaabu Lyrics by Juliana Kanyomozi


Katonda bw’akuwa omuntu
Gw’osiimye kiba ng’ekirooto
N’omutunuulira nga yenna
Omwewulira era akusanyusa
Nze mazima nali nterebuka
Ng’anti oluddewo okutuuka
Ng’anoonya eyo laavu eri natural
Gye mpulira mu buyimba
Omuntu gwe sirina kyentoma
Okugaya oba okukyusa
N’obukooweekoowe bubwo ku maaso
Era nabwo bulungi
Yadde ebigambo mu nsi bingi
Bimpeddeko mukwano
Nkugambe ki kyotalaba ku laavu
Enzijudde mu maaso

Bannange temunkwatira ku zaabu
Temundeetera ttaabu
Mweyitira nze kibubu
Bubu zaabu
Temunkwatira ku zaabu
Temundeetera ttaabu
Mweyitira nze kibubu
Bubu zaabu

Nkusuubiza nnyo okukkakkana mwami
Nze mbeere omukyala
Anaakuwa ekitiibwa ekisaana omulenzi ow’ekitiibwa
Couple yaffe ebakuba nnyo
Tumazeeyo omukwano
Abo tobafaako bambi aboogezi babaawo tebabula
Ng’akayimba akaweweeza
Akasirisa abaana
Njagala nkubeerere ntyo
Nga sikunyiiza bambi
Oli kintu eky’omuwendo
Abakyegomba bangi
Nsaba nkuteekeko akalambe
Bonna bakimanye oli wange

Zaabu wange omutima gwe gwakulonda
Era nkwetaaga
Muli nkwesunga
Sembera kumpi nze nkwewe nzenna
Bwemba kumpi naawe
Mba ntuuse eka