0:00
3:02
Now playing: Nkyanoonya

Nkyanoonya Lyrics by Juliana Kanyomozi


Njagala mwesigwa, amanyi omukwano
Nga alabika bulungi asanyusa amaaso
Atanswaze, mulage mubange
Sigamba nti atukulidde ahah nedda!
Atalina agamba, nga Juliana bwendi (eeh)

Nkyanoonya
Ndimulaba, luliba olwo
Maama! Eryo essanyu
Ndirifuna, kangyira nindako
Nkyanoonya
Ndimulaba, luliba olwo (luliba olwo)
Obwomu buluma!
Naye kale, tekigasa kupapa

Njagala wampisa anampa nange ekitibwa
Kuba nange, siri awo bwentyo
Njagala mugezi anandanga nga ekitufu
Njagala muntu nange anfako
Ampembejje ansunte nange
Obulungi bwange aleke okubujolonga

Nkyamunoonya ah, aah-aah, aah-aah! (Uh uh!)
Nkyamunoonya ah, aah-aah, aah-aah! (Uh uh!)

Nkyanoonya
Nze ndimulaba, luliba olwo
Maama! Eryo essanyu
Ndirifuna, kangyira nindako (kangyira nindako mulinze)
Nkyanoonya
Ndimulaba, luliba olwo (Nze ndimulaba)
Obwomu buluma! (Obwomu buluma)
Naye kale, tekigasa kupapa (Nze sijja kupapapa, no!)

Njagala mwesimbu, ntya abayaye
Nsaba mukama onyambeko okumufuna
Omukakamu, atya Katonda
Atapapira nsonga, akwata empola
Sigamba nti nange ntukiridde, no no
Njagala oyo anafuba okunjiga nze

Nkyamunoonya ah, aah-aah, aah-aah! (Uh uh!)
Nkyamunoonya ah, aah-aah, aah-aah! (Uh uh!)

Nkyanoonya
Nze ndimulaba, luliba olwo
Maama! Eryo essanyu
Ndirifuna, kangyira nindako (kangyira nindako)
Nkyanoonya (oh-oh-oh-oh oh-oh-oh-oh)
Ndimulaba, luliba olwo
Obwomu buluma! (Obwomu buluma)
Naye kale, tekigasa kupapa (sijja kupapapa, nedda!)

Kaninde (kaninde)
Nasangayo ansanira
Kanoonye (kanoonye)
Anandaga obwesigwa
Kaninde (kaninde)
Nze sipape era ngumye
Kanoonye (kanoonye)
Omulungi anansanira
Kaninde (kaninde)
Omulungi anansanira
Kanoonye (kanoonye)
(Hey yeah yeah yeah eh-eh eh ih)
Kaninde, (ninze) (kaninde)
Juliana sija kupapapa papapapa (ooh)