Omukwano Ogwedda Lyrics by Juliana Kanyomozi


Huuuu
Heeeee
Ndi wano ndowooza bwe wanjagalanga
Nzijukira bwe wambiita bambi
Nzijukira bwe wammatizanga omukwano
Kyokka nga yo essaawa
Tedda mabega tekyakyuka
Bwentyo bwe nzijukira omukwano guli ndwala

Omukwano ogw'edda aah
Aliva wa alinjagala nga ggwe?
Omukwano ogw'edda aah
Aliba ani alimbiita nga ggwe?
Omukwano ogw'edda aah
Simanyi oba gulidda

Ebyonno bimmazeeko obugezi
Era mpulira nsobeddwa
Kati kansale na busazi magezi
Kuba mpulira ?enderera
Ninga empologoma
Enoonya obwana bwayo
Empuuna malungu,
Mu ddungu ly'omutima gwange bwe ziwuuna
Bwentyo ndi wano
Enjuba yange tekyayaka
Ndowooza omukwano ogwedda

Omukwano ogw'edda aah
Aliva wa alinjagala nga ggwe?
Eyo laavu ey'edda
Aliba ani alimbiita nga ggwe?
Omukwano ogw'edda aah
Simanyi oba gulidda

Hee eeh, eeh

Simanyi okimanyi kye ŋŋamba gwe
Ng'olina omuntu gwe wayagala edda
Gwe wasiima n'oganza
Omutima nga tegunnaba kukoowa nnyo
Ebiddawo tebyenkanankana anti
Yadde abalungi ndagala nnamu mwattu
Naye omuntu eyakusensera obwongo
Teyesonyiyika

Omukwano ogw'edda aah
Aliva wa alinjagala nga gwe? Eeh!
Eyo laavu ey'edda
Aliba ani alimbiita nga gwe? Uuh!
Omukwano ogw'edda aah
Aliva wa alinjagala nga gwe? Eeh!
Eyo laavu ey'edda
Aliba ani alimbiita nga gwe? Eeh
Omukwano ogw'edda aah

Simanyi oba gulidda
Gwagenda, gwagenda (Simanyi oba gulidda)
Ogw'ennaku zino gulimu amakoona (Simanyi oba gulidda)
Oba omutima gwamenyeka Gunyige, gunyige (Simanyi oba gulidda)
Byo ebirungi bwebityo tebiggwa buwoomu so (Simanyi oba gulidda)
Simanyi, simanyi, simanyi, simanyi (Simanyi oba gulidda)
Simanyi, simanyi, simanyi, simanyi (Simanyi oba gulidda)
Eeh ih (Simanyi oba gulidda)
Eeh ooh (Simanyi oba gulidda)