Waguan
Yeah eeh
Kaali kaseera ka sala wano
Ng’ensi bagigabana nti gundi sala wano
Uganda baagigabana dda
Ne beegabira ebitundu byonna ebya kuno
Ne bagigabana nga bakimanyi mulimu
Abantu baffe maama aba kuno
Ekyo ekikolwa kibi nnyo
Ki tugabanye nga mangada?
Kikolwa kibi nnyo
Mulinga abatali ba kuno!
Muli bantu babi nnyo
Naye katubayiiye guno omulundi teri kwebaka ah
Tubiraba byonna bye mukola
Ne plan zammwe zonna ze mukola aah
Ku luno teri kwebaka
Bannange tuwage (tuwage)
Nze mbasaba kimu tuwage (tuwage)
Yonna gye muli muwage (tuwage)
Akaseera ke kano oh (tuwage)
Bannange tuwage (tuwage)
Amaanyi mulage (tuwage)
Ekibuga kinyume (tuwage)
Mbasaba omwoto mukume (tuwage)
Nze nkimanyi bagenda kakasa
Yadde nga beebuzaabuza
Buli kye baasangawo eno bakidibaga okukamala
Ate nga beebuzaabuza
Buli kye bakwatako eno bakivuluga okukamala
Olumala nga beebuzaabuza
Baatusuubiza eddagala n’ebyokupakasa
Byonna nga babuzaabuza
Okusoma, okusoma nakwo era baatusuubiza
Olumala nga beebuzaabuza
Olaba ne Kabaka waffe, mtschew
Naye ebyo kambireke
Mbasaba kimu tufungize
Guno omulundi teri bya kwebaka
Teri bya kwebakka
Bannange tuwage (tuwage)
Nze mbasaba kimu tuwage (tuwage)
Yonna gye muli muwage (tuwage)
Akaseera ke kano oh (tuwage)
Bannange tuwage (tuwage)
Amaanyi mulage (tuwage)
Ekibuga kinyume (tuwage)
Mbasaba omwoto mukume (tuwage)
Aaah ah ah
Naye nammwe aaah ah ah
Ebbanga liyise aaah ah ah
Emyaka ataano hapana
Mubeeko kye mukola aaah ah ah
Abaana balaba aaah ah ah
Balitunenya nti hapana
Twaleka ebbanga ne liyita
Mubeeko kye mukola aaah ah ah
Yooo, yeaaah
Uh laa, yeah yeah
Okuva ku meefuga maama tulumwa
Tulumwa era ne tulumwa
Oluyimba lw’eggwanga lwa Luzungu kiruma!
Kiruma maama kiruma
Teri atufaako maama kiruma
Buli gwe tuwa y’atulyamu maama kiruma
Eggwanga baalitunda na dda era kiruma
Kiruma, nkugambye kiruma
Ekitiibwa kya Uganda kyonna maama kyava dda, ah
Naye maama kyafa dda
Ne be twesiga era baavunda
Ebikolwa byabwe maama byakyuka
Bannange tuwage (tuwage)
Yonna gy’oli muwage (tuwage)
ŋŋamba abalimi tuwage (tuwage)
N’abavubi muwage (tuwage)
Ab’akatale muwage (tuwage)
Abasuubuzi muwage (tuwage)
Ab’engulu muwage (tuwage)
N’abemmanga muwage (tuwage)
Abo munda muwage (tuwage)
Uganda yonna tuwage (tuwage)
Ooh maama tuwage (tuwage)
Obudde buyise (tuwage)
Bannange mwenyweze (tuwage…)